Amawulire

Bobi Wine acamudde ab'omu Nakaseke

Omukulembeze w'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) oluvudde e Nakaseke gy'abadde agenze okutwalira obuyambi omuwagizi we eyakoonerwa amakaage ne gasaanawo ayiseeko mu tawuni y'e Nakaseke okubuuzaako ku bawagizi be ababadde bakwatiridde ku makubo nga baagala okumulabako.     

Bobi Wine acamudde ab'omu Nakaseke
By: Lawrence Kitatta, Journalists @New Vision

Era naye olulabye nga bayitirivu n'aggyayo omutwe okubawuubirako era ku luno ekimu ku byenjawulo ebibaddewo poliisi teyategeddeko nti omukulu ono ajja kubeera mu kitundu kino we bagenze okutuukira okumugobaagobako nga amaze okuyitamu era obwedda bajja bagoba bugobi buufu w'ayise.

Ab'omu Nakaseke nga babugiriza Bobi Wine

Ab'omu Nakaseke nga babugiriza Bobi Wine

Tags: