ABANTU 22 abagambibwa okusangibwa n'ebisolo eby’omu nsiko wamu n'ebitundu byabyo, bakwatiddwa poliisi y'e Nakaseke.
Bano , kigambibwa ebitundu n'ebisolo, babadde babitambuliza mu mmotoka ya takisi nnamba UAV 523K nga mulimu n'ebintu ebyeyambisibwa okuyigga wamu n'abantu 22.
Mubaddemu ebitimba ebyeyambisibwa okuyigga, amafumu, amajambiya, obwambe, emirandira n'ebikoola, ennyama embisi n'enjokye ey’ebisolo by’omu nsiko , amayembe g'ebisolo n'ebirala.
Omwogezi wa poliisi mu Savana ,Sam Twineamazima agambye nti bano, baakuweerezebwa eri abavunaanyizibwa ku bisolo by’omu nsiko babanoonyerezeeko.