Bya Wilson Ssemmanda
EKITONGOLE kya Agricultural Business Initiative (aBi) kiwaddeyo obuwumbi 7 n'obukadde 500 okuyamba abalimi, abalunzi n'aba bubizinensi obutonotono okusigala nga bakola mu kiseera ng'embeeera y'obudde egenda ekyukakyuka.
Akulira ekitongole kya aBi, Mona Muguma-Ssebuliba yagambye nti ssente zino za kuyita mu byabulimi ebiyambako ebimera okugumira embeera y'obudde, n'engeri ez'enjawulo abalimi ze basobola okukozesa okukuuma ebirime nga tebikoseddwa mbeera ya budde.
Yagambye nti batandise pulogulaamu eno n'obuwumbi 7 n'ekitundu n'ekirooto eky'okutuuka ku buwumbi 20, 2023 w'anaggweerako.
Yagambye nti ebyobulimi mu Uganda biraga nti bigenda binafuwa olw'embeera y'obudde egenze ekyuka kyokka nga n'abantu ababyesigamyeko beeyongedde obungi kw'ossa enkaayana ku ttaka, nga kino kiteeka Uganda mu kifo kya 12 mu nsi eziri mu katyabaga k'okwonooneka kw'embeera y'obudde.
Ssentebe wa bboodi ya aBi, Felix Okoboi yagambye nti walina okubaawo ekikolebwa okukuuma embeera y'obudde ng'esobozesa abalimi okulima emmere era tewali alina kusirika ng'embeera y'obudde yeeyongera okwonooneka ng'atunuulidde Gavumenti.
Ensawo eno yaakumala ebbanga lya myezi 12 - 18 nga mulimu n'okutumbula okunoonyereza, bannassaayansi ebibiina by'obwannakyewa ebirwanirira obutonde bw'ensi n'ebirala.