Amaka g’obwapulezidenti gawadde ab’e Kawempe eby’okwekulaakunya

ABANTU abakola emirimu gya bulijjo mu bitundu bya Kawempe North abasoba mu 150, baganyuddwa mu nteekateeka y’amaka gw’obwapulezidenti bwe babawadde entandikwa wansi wa pulogulaamu ya Youth Wealth Creation

Amaka g’obwapulezidenti gawadde ab’e Kawempe eby’okwekulaakunya
By Patrick Kibirango
Journalists @New Vision
#Amaka' #Pulezidenti

ABANTU abakola emirimu gya bulijjo mu bitundu bya Kawempe North abasoba mu 150, baganyuddwa mu nteekateeka y’amaka gw’obwapulezidenti bwe babawadde entandikwa wansi wa pulogulaamu ya Youth Wealth Creation.


Omukwanaganya wa pulogulamu eno era omukungu okuva mu maka g’obwapulezidenti, Faizal Ndade bano yabasisinkanidde ku Klezia ya St. Peter’s mu Kanyanya n’abakwasa ebintu bye bakozesa mu mirimu gyabwe.

Ndase (wakati) Ng'akwasa Abantu Ebimu Ku Bintu Bye Baafunye

Ndase (wakati) Ng'akwasa Abantu Ebimu Ku Bintu Bye Baafunye


Abaafunye ebintu kuliko; abasiika chapati, abasiika chipusi, aba saluuni n’abatunzi b’ebyalani.

 

Bakwasiddwa ebintu okwabadde ensawo y’obummonde n’ekidomola kya liita 20 buli omu ekya butto, katoni y’eng’ano ne butto liita 20 buli omu,
ebyalaani bibiri buli omu eri abatunzi ne ddulaaya eri abasaluuni.


Ndase yabawabudde okubikozesa n’obuvunaanyizibwa okusobola okutuukiriza omulamwa gwa pulogulaamu eno ogw’okukyusa embeera z’abantu baabulijjo n’okuwagira Pulezidenti okutwala eggwanga mu maaso. 


Pulogulaamu ya Youth Wealth Creation, evujjirirwa amaka g’obwapulezidenti okuyita mu agivunaanyizibwako Jane Barekye nga yatandika mu 2022 era abantu abasoba mu 1,000 be baakagiganyulwamu.