Amawulire

Abayizi 131 ku 476 abali mu Sentema C/U baliko obulemu

Ku bayizi 476 abali ku Sentema Church of Uganda Primary School, 131 baliko obulemu obuyitibwa dyslexia.  Omwana ali mu mbeera eno atawaanyizibwa nnyo mu kusoma ebigambo n’okubala. 

Abaana abalina dyslexia bakaluubirizibwa okusoma n'okuwandiika
By: Ritah Mukasa, Journalists @New Vision

Ku bayizi 476 abali ku Sentema Church of Uganda Primary School, 131 baliko obulemu obuyitibwa dyslexia.  Omwana ali mu mbeera eno atawaanyizibwa nnyo mu kusoma ebigambo n’okubala. 
Mu kibiina abeera mujagujagu era ng’addamu bulungi ebibuuzo, ekiraga nti bye bamusomesa abitegeera wabula bwe kituuka mu kubiwandiika, bimulema. 
Era abaana bano batawaanyizibwa nnyo mu kwawula ennukuta. Okugeza ayinza okwogera ekigambo ‘BOY’ ate n’awandiika ‘YOB’.
Rebecca Nankanja, akulira essomero lino agamba nti okumala ebbanga ddene nga beebuzza lwaki abaana abasoba mu 100 balemererwa okusoma n’okuwandiika kyokka nga mu kibiina balaga nti bye babasomesa babitegeera. 
Ekizibu baakizuula ab’ekitongole kya Save the Children bwe baabatuukirira ne babangula ku bulemu obwenjawulo (learning disabilities) obuli mu baana n’engeri gye basobola okubayamba. 
Mu buno mwe mwali ne dyslexia era okuva olwo baatandika okuyamba abaana bano mu ngeri ezenjawulo. 

Rebecca Nankanja (ku kkono) akulira Sentema C/U Primary school ng'ali ne Samalie Nanvunanwa okuva ku disitulikiti y'e Wakiso

Rebecca Nankanja (ku kkono) akulira Sentema C/U Primary school ng'ali ne Samalie Nanvunanwa okuva ku disitulikiti y'e Wakiso


Bwe babeera basoma, babagatta ne bannaabwe ate wekyetaagisa ne babawa ‘coaching’.
Omwaka guno, basatu ku baana bano baatudde ebibuuzo by’akamalirizo era Nankanja asuubira nti bajjakukola bulungi kubanga babawadde buli kye beetaaga nga n’ekitongole ky’ebigezo ekya UNEB kyabaweereza ababayambako okuwandiika.
Nakanja akubiriza abakulira amasomero naddala aga gavumenti okufaayo ennyo ku baana abaliko obulemu mu by’okusoma. 
 “Abamu mubayita basiru mbu tebategeera kyokka nga mmwe mutabategeera. Singa mubayamba basobolera ddala okuyita obulungi,” bwe yagambye.
Samalie Nanvunanwa, akulira eby’okusoma kw’abaana abaliko obulemu mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti amasomero ga gavumenti gonna bagakubiriza okuwandiika abaana abaliko obulemu kyokka mu gamu, abaana bano tebabafaako. Yasiimye Nankanja olw’omulimu ettendo gw’akola.
Tags: