Bassereebu beetutte mu kivvulu kya Kansiime

BASSEREEBU beeyabizza mu kivvulu kya Anne Kansiime ekya katemba. Ekivvulu kino kyetabiddwaako bassereebu okwabadde; Gnl Zamba, Gaetano Kaggwa, Miria Matembe, Salvador, Daniel Omara, Madrat and Chiko n’abalala.

Miria Matembe mu kivvulu kya Kansiime.
NewVision Reporter
@NewVision

BASSEREEBU beeyabizza mu kivvulu kya Anne Kansiime ekya katemba. Ekivvulu kino kyetabiddwaako bassereebu okwabadde; Gnl Zamba, Gaetano Kaggwa, Miria Matembe, Salvador, Daniel Omara, Madrat and Chiko n’abalala.

Bano baabadde balina okujerega Kansiime mu ngeri ya katemba kyokka obudde baabumaze beejerega bokka na bokka. Baajereze Chiko ne Salvador nti balina embuto eziringa ezirimu ebiwuka ate abalala nga bavumirira Chiko okukola ne Madrat gwe bagamba nti alinga mutabani we.

Ekivvulu kya katemba kino, munnabyabufuzi Matembe yasesezza bangi mu ngeri gye baabadde tebasuubirwa wadde nga Gaetano yamuyisizzaamu eggaali nti yeewuunya omuntu eyaliko minisita w’ebyempisa ate okubeera ng’essaawa eno y’akola ebintu bino.

Login to begin your journey to our premium content