Basomeseddwa obukodyo bw'okweggya mu bwavu

Jul 01, 2022

Bannayuganda naddala abakyala basabiddwa okukozesa ebifo ebifunda okubaako emirimu gyebabikoleramu okusobola okweyimirizaawo.Bino bituukiddwaako abakyala abe'njawulo okuva mu munisipaali ye Kawempe bwebabadde basomesebwa ku bukodyo bwebalina okukozesa okulaba nga batereka ssente entono zebafuna ate n'okuzikozesa okwetandikirawo emirimu

Abakyala nga basomesebwa

Emmanuel Ssekaggo
Journalist @Bukedde

Bannayuganda naddala abakyala basabiddwa okukozesa ebifo ebifunda okubaako emirimu gyebabikoleramu okusobola okweyimirizaawo.

Bino bituukiddwaako abakyala abe'njawulo okuva mu munisipaali ye Kawempe bwebabadde basomesebwa ku bukodyo bwebalina okukozesa okulaba nga batereka ssente entono zebafuna ate n'okuzikozesa okwetandikirawo emirimu.

Bak 3

Bak 3

Emmy Olupot akulira ekitongole kya Bersama Emmy Development Center abamu ku baategese omusomo guno akuutidde abakyala nti balina okufuba okulaba nga banoonya obukugu mu kukola emirimu egy'enjawulo ate byebasoma babiteeke mu nkola olwo lwebajja okukulakulana.

Bak 10

Bak 10

Martha Tayiwah akulira Mums Booth Empowerment Initietive yakuutidde abakyala okukomya omuze ogw'okutya okutandika wabula bwewabaawo ssente zebafunye nebweziba ntono zitya bafube bazitandikise emirimu egivaamu ensimbi olwo zisobole okuzaala amagoba.

Omusomo guno gwabadde Kyebando awamanyiddwa nga Mukitabbuliiki era abakyala baasomeseddwa ebintu eby'enjawulo ebikwata ku kutereka, okulima obutiko wamu n'okukola ebintu eby'enjawulo ebibatwala mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});