Basiimye Vision Group olw’okutumbula omutindo gwa kkwaaya

KKWAAYA y’Obulabirizi bw’e Namirembe ey’awamu eya Namirembe Diocesan Choir etendezza kkampuni ya New Vision efulumya Bukedde olw’okusitula omutindo gw’okuyimba olw’okujjukira Abajulizi b’e Namugongo.

Omugenzi Omulabirizi Samuel Balagadde ng’ali ne kkwaaya y’e Namirembe, egenda okuweza emyaka 30.
NewVision Reporter
@NewVision

KKWAAYA y’Obulabirizi bw’e Namirembe ey’awamu eya Namirembe Diocesan Choir etendezza kkampuni ya New Vision efulumya Bukedde olw’okusitula omutindo gw’okuyimba olw’okujjukira Abajulizi b’e Namugongo.
James Kasasa omuyimbisa wa kkwaaya eno yagambye nti wakati mu mpaka z’okuyimba ku Bajulizi ezaawomebwamu omutwe kkampuni ya New Vision n’abalala zongedde ettoffaali ku mutindo gw’okuyimba.
Yagambye nti kkwaaya eno bukya etondebwawo eyali Omulabirizi w’e Namirembe, omugenzi Samuel Balagadde Ssekadde buli mwaka efubye okulaba nga yeetaba mu kuyimba ku kiggwa ky’Abajulizi.
Mu 1995 Omulabirizi Ssekadde yafuna ekirowoozo ky’okutondawo kkwaaya eyawamu eya Joint Namirembe Diocesan Choir mu Bulabirizi nga ya bayimbi nga 500 ng’ezingiramu abayimbisa bonna mu makanisa agali ku Bulabirizi era ne kituukirira.
Kasasa yagambye nti ebigendererwa kya kkwaaya eno kwali kutumbula omutindo gw’okuyimba mu masinzizo ku musingi gw’ennono ya Anglican Church nga bw’ayongera okunyonnyola. Kkwaaya eno buli mulabirizi w’e Namirembe abeerako ekiseera ekyo y’abeera omuyima waayo.
Buli mukolo omunene ogw’obulabirizi naddala okujjukira Abajulizi e Namugongo olubaawo buli nga June 3, balina okugyetabako.
Eno ye kkwaaya y’obulabirizi eyawamu eyasooka mu kkanisa ya Uganda era ng’esobidde okutuukiriza ebigendererwa byayo bukya etondebwawo.
Kkwaaya eno yeenyigira mu nnyimba z’ebiro by ‘Okujja kwa Yesu Kristo (Advent Carols), ez’Amazaalibwa n’ez’Amazuukira mu kkanisa Lutikko -Namirembe .
Ku Ssande kkwaaya eno etegese okusaba okw’okwebaza olw’obuweereza mu kkanisa Lutikko -Namirembe ate akawungeezi bategese ekivvulu ky’ennyinba mu Synod Hall.

Login to begin your journey to our premium content