Bannamateeka batidde okuwolereza agambibwa okutta Kagezi

Nov 13, 2024

Omuwaabi wa gavumenti Lino Anguzu yategeezezza kkooti nga ng’omuwandiisi wa kkooti eno bwe yali yalonda bannamateeka Sylivia Namawejje ne Hassan Ali Kato okuwolereza abantu bano.

Bannamateeka batidde okuwolereza agambibwa okutta Kagezi

Edward Luyimbazi
Journalist @Bukedde

Bannamateeka batidde okuwolereza abasajja 4 abagambibwa okutta eyali omumyuka w’omuwaabi wa gavumenti Joan Kagezi.

Abasajja bano kuliko Daniel Kisekka Kiwanuka, John Kibuuka, John Massajjage "Mubiru" ne Nasur Abdullah Mugonole  nga bano be bagambibwa okutta Kagezi nga  March 30, 2015 e Kiwaatule okuliraana e Klezia ya St.Mbaga Tuzinde.

Bano baalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi owa kkooti enkulu ewozesa emisango egiri ku mutendera gw’ensi yonna e Nakasero okutandika okuteekateeka engeri gye bagenda okuwuliramu emisango gino.

John Kibuuka, John Massajjage  Ne Nasur Abdullah Mugonole  Nga Bali Kaguli Mu Kkooti E Nakasero.22

John Kibuuka, John Massajjage Ne Nasur Abdullah Mugonole Nga Bali Kaguli Mu Kkooti E Nakasero.22

Omuwaabi wa gavumenti Lino Anguzu yategeezezza kkooti nga ng’omuwandiisi wa kkooti eno bwe yali yalonda bannamateeka Sylivia Namawejje ne Hassan Ali Kato okuwolereza abantu bano.

Kyokka bwe yayogedeko ne bannamateeka bano okubategeeza nga bwe balondeddwa okuwolereza abasibe bano, baamutegeeza nga bwe batali beetegefu kuwolereza basibe bano kubanga bayinza okuberamu kyekubiira nga bawoza.

Bwatyo Anguzu asabye kkooti efunira abasibe bano bannamateeka abalala abayinza okubawolereza.

Omulamuzi Komuhangi yabuuzizza abasibe bano oba balina bannamateeka abanaabawolereza, Kisekka ne Kibuuka ne bagamba nti bajja kufuna bannamateeka baabwe kyoka bw’ababuuzizza oba babamanyi ne bagamba nti tebabamanyi.

Anguzu ategeezezza kkooti nti obujulizi obusinga bwe bagenda okweyambisa mu musango guno baamala dda okubuwa kkooti era basigazzaayo butono.

Yagambye nti bwe banaamala okumanya bannamateeka abagenda okuwolereza abasibe bano nabo bajja kubawa obujulizi buno.

Omulamuzi Komuhangi alagidde omuwandiisi wa kkooti eno okulonda bannamateeka abalala era oludda oluwaabi lubawe obujulizi obutasukka November 26, 2024 olwo bakomewo mu kkooti okuteekateeka omusango guno nga December 9 ne 10 2024.

 

 

Register to begin your journey to our premium content .