BAMBEGA babiri bawuniikiridde, kkooti y’amagye bwe battottodde engeri gye baakola pulaani z’okutega bbomu mu Kampala ne baloopa abanene abaali mu ddiiru eno eyafiiramu abantu abatalina musango.
Hamza Lyavaala ne Adiil Walusansa, abaali bambega ba gavumenti nga bakolagana butereevu n’abanene mu kitongole ky’amagye ekikessi, baalaze bwe baaluka olukwe okutega bbomu e Munyonyo ku kiggwa ky’Abajulizi ne ku katale ka Kaleerwe omwafiira abantu abasatu, amagye be gaayita abatujju so nga baali bassaalumanya!.
Bino byabadde mu kkooti y’amagye etuula e Makindye, eyakubiriziddwa ssentebe waayo, Brig. Gen. Richard Tukacungurwa era bombi Lyavaala ne Walusansa bakkiriza emisango gy’okwekobaana n’abanene mu magye ne batega bbomu nga bagenderera okufuna ssente.
Bbomu bbiri zaategebwa mu June 2025 ng’eyasooka yategebwa ku lunaku lw’Abajulizi nga June 3 ku lutindo lwa Kaggwa Bridge okumpi n’ekiggwa ky’Abajulizi ekya Munyonyo Catholic Shrine ng’eno yafiiramu abantu babiri; Sumaya Byaruhanga n’owa Boda Boda ataamanyika mannya n’okutuusa olwaleero.
Nga wayise wiiki kumpi ssatu, bbomu endala yatulikira mu maaso g’akatale ka Kaleerwe nga June 21 n’etta omuwala Sawiya Azatu agambibwa nti, yali Munnakenya.
Ebikwata ku musango ebyaleeteddwa omuwaabi wa gavumenti, Lt. Regina Nanzaala biraga nti, ababiri bano nga baaliko abayeekera ba ADF okwawukanako ne bye baali babuulira abeebyokwerinda, nti beenyigira butereevu mu kuluka olukwe olwavaako okutta Sumaya Byaruhanga ne Sawiya Azatu mu bbomu ezaakubwa nga June 3 e Munyonyo ne nga June 21 ku Kaleerwe. Ebyasomeddwa byonna ababiri bakkirizza nti, bituufu.
ENGERI GYE BAALUKA DDIIRU
Nanzaala yabuulidde kkooti nti, Lt. Col. Byaruhanga yasisinkana Lwavaala ne Walusansa mu wooteeri ya Goers e Namulanda ku luguudo lw’e Ntebe n’abategeeza ku pulaani gye yalina n’engeri gye baali bajja okugiggusaamu olwo n’abalagira bafune omukazi anaakola omulimu olwo era n’awa Walusansa ssente apangise ennyumba e Kinaawa – Nateete.
Oluvannyuma, baafuna omukazi Sumaya Byaruhanga okuva e Busoga era ne bakkiriziganya nti, ddiiru esooka yaakubaawo ku lunaku lw’Abajulizi nti, Lt. Col. Byaruhanga yali agenda kubuulira Gen. Otto ku butujju buno olwo ku lunaku lwennyini era Lyavaala ne Walusansa ne bategeeza abeebyokwerinda bonna nti, waliwo obutujju bwe baali bategeddeko nga bali bulindaala okufufuggaza abatujju abo era bwe kyali.
Omukazi, Byaruhanga olwo baamulagira n’asimbula okuva e Kinaawa n’ayolekera ne bbomu okuyita ku lutindo olw’oku kiggwa e Munyonyo bbomu we yabwatukira n’afiirawo.
Nga wayise wiiki emu, Lt. Col. Byaruhanga era yaddamu okuluka olukwe olulala era ne bafuna omusajja Kasimu yeetulisizeeko bbomu ng’ono ye yaleeta Sawiya Azatu eyattibwa ku Kaleerwe.