Amawulire

Abaana babiri beebafa obubenje buli lunaku nga bagenda ku ssomero-Police Report

ABAANA babiri beebafa buli lunaku mu bubenje nga bagende ku somero oba nga batambulira ku nguudo era nga omwaka beebaana 700 naye nti kino kiva ku bantu abavuga emmotoka oba bodaboda n'ekimama.

Michael Kananura omwogezi wa police yebidduka nga ali n'abamu ku baana mu kivulu ekimanyibwa nga car free day e Kampala
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

ABAANA babiri beebafa buli lunaku mu bubenje nga bagende ku somero oba nga batambulira ku nguudo era nga omwaka beebaana 700 naye nti kino kiva ku bantu abavuga emmotoka oba bodaboda n'ekimama.

Poliisi ng'ewanise kampeyini

Poliisi ng'ewanise kampeyini

Bino byogedwa Micheal Kananura omwogezi wa polici y'ebidduka wabadde atongoza kyebayise Car Free Day mu kampala era nga olunaku luno lutegekebwa KCCA wamu ne kitongole ekikola kukugabira abantu Number plaze za tekinologiya ekimanyibwa nga Intelligent transport monitoring system  (ITMS wamu ne Kampala,capital city Authourity (KCCA). 

Ono agambye nti basazeewo okutegeka olunaku luno okusobola okumanyisa abaana omugaso gw'okufaayo ennyo nga basala enguudo okugenda ku somero oba kumaduuka Assembyeyo nga asaba abazadde okuyigiriza abaana bano kungeri gyebakozesamu enguudo era navumirira abazadde abatika abaana abato ku bodaboda kumakya nnyo kyoka nga bakyalina otulo ekibaviirako okugwa nga basumagira ekintu ekiteeka obulamu bwabwe mumatigga .

Abamu ku baana nga balaga obubonero bwo ku nguudo

Abamu ku baana nga balaga obubonero bwo ku nguudo

Pearl Priscah Ayesiga okuva mu kitongole kya ITMS agambye nti basanyufu nnyo okuba nga omukolo guno gutegekebwa naye nasaba abantu okwegendereza nnyo nga bakozesa enguudo nadala abaana abato ...Ono asabye n'abakozesa ebidduka okumanya nti waliwo abantu abakozesa enguudo zino n'olwekyo balina okwegendereza

Tags: