AB'ENGANDA ne bannamateeka NUP bakedde ku kkooti e Kanyanya okuwulira omusango gw'okukola paleedi egambibwa okubeera nti yakolebwa mu bumenyi bw'amateeka
Olwaleero omulamuzi Damalie Angumasiimwe owa kkooti esookebwako lwalina okuwa ensala ye kukusaba kw'okweyimirirwa.
Aba NUP nga bali ku kkooti
Abali mu kkomera kuliko Amyuuka omwogezi w'ekibiina Alex Waiswa Mufumbiro, akulira etendekero lya NUP Doreen Kaija, Calvin Tasi (Bobi Giant) Achileo Kivumbi, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe, Sauda Madaada, Yasin Nyanzi, Edwin Sserunkuuma eyeyita Eddy King Kabejja, Toney Kaweesi ne Sharif Lukenge.
Zigenze okuwera saawa 1:30 ez'okumakya nga poliisi n'amagye bimaze okussa emisanvu ku luguudo oludda ku kkooti nga okuyitawo olina okubeera n'ekiwandiiko ekiraga nti ogenda ku kkooti wabula kino tekyalobedde bazze kubagoberera kukeera ku kkooti era nga zigenze okuwere saawa 3:00 nga kkooti ejjudde kyokka bano nagyebuli eno abantu babwe tebanatuusibwa ku kkooti