EKIBIINA ekitaba abatumbula eby’obuwangwa n’ennono ki Uganda National cultural center kiddukidde eri palamenti okukiyambako okukola ennongosereza mu teeka lya UNCC Act 1959 ne bagamba nti mukadde kano balabwa nga abasabirizi olw’okubulwa etteeka eribalungamya.
Bano nga bakulembeddwamu omuyimbi Moses Ssali amanyiddwa nga Bebe Cool bategeezezza sipiika wa palamenti Anita Among nga etteeka eririwo bweriri ekadde ennyo nga lyakoma okukolwamu ennongosereza mu 1965 kyokka nga bbo bannabitone tebayinza kukiriza kulaba nga eby’obuwangwa bisuulwa muguluka.
Omuyimbi Phinah Mugerwa Masanyalaze nga mmemba mu kibiina kino asabye palamenti okubalowoozako kubanga kati balabibwa nga abasabirizi nga n’obukubagaano buyitiridde olw’okuba tewali nkola nnungamu embalambika kukola.
Sipiika Among bano abasabye okufuba okulaba nga batumbuula eby’obuwangwa abantu bamanye wa gyebasibuuka na kiki kyebali kubanga yo palamenti netegefu okuyimira wamu nabo.
Agambye kintu bitone kikulu nnyo kubanga kiyambako abantu okumanya ensibuko yaabwe nga n’olwekyo asabye ababaka Hillary Kiyaga ne Geoffrey Kayeba okulaba nga baleeta eteeka lino mu palamenti.