Amawulire

Bamusibye emyaka 30

OW’AKABINJA akatingomya Kyengera nga banyagisa emmundu kkooti emusindisemu kkomera akulunguleyo emyaka 30

Balikoowa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OW’AKABINJA akatingomya Kyengera nga banyagisa emmundu kkooti emusindise
mu kkomera akulunguleyo emyaka 30.
Kkooti y’amagye yasindise Mohammed Balikoowa mu kkomera olw’okusingibwa ogw’obwakkondo n’okusangibwa n’emmundu mu bumenyi bw’amateeka. Balikoowa
49 nga muvubi yakwatibwa mu kabinja akababbisa emmundu era yasangibwa mu maka ge gyeyali abeera ne muganzi we Teopista Mbabazi e Namagoma kyokka
baasimbibwa mu kkooti y’amagye ne beegaana emisango okutuuka lwe gwawuliddwa ne gubasinga.
Ssentebe wa kkooti y’amagye Brig. Gen. Freeman Mugabe yagambye nti kkooti yazudde ng’ekibonerezo eky’emyaka 35 kijja kumumala ku musango gw’obwakkondo ate ennaku
21 ku gw’okubeera n’emmundu mu bukyamu. Baatoddeko emyaka
ebiri n’emyezi etaano gy’amaze mu kkomera n’omwaka gumu n’emyezi
ena ng’ekisonyiwo olwo waakusibwa  emyaka 30. Ate Mbabazi yasingibwa
ogw’okusangibwa n’emmundu mu bukyamu n’asibwa ennaku 21. Nga
June 15, 2022 Balikoowa ne banne nga bakozesa emmundu babba boda boda ya Peter Wahadatu

Tags: