BALOOYA b’abawawaabirwa mu gw’okulebula Paasita Robert Kayanja owa Miracle Centre e Lubaga boolekedde okusimbibwa mu mbuga z’amateeka n’okuweebwa ekibonerezo ekikakali singa ogw’okulimba kkooti gubakka mu vvi!
Kyaddiridde omu ku balooya bano Hamphrey Tumwesigye, okulimba nga bw’atajja kubeerawo kuwulira musango guno nti yabadde ayitiddwa omulamuzi wa Kkooti enkulu Alex Ajiji mu musango gwa Joseph Ssentamu kyokka obujulizi obwaleeteddwa omuwaabi wa Gavumenti Jonnathan Muwaganya ne bulaga nti ono yabadde alimba.
Kyategeezeddwa nti ku lunaku Tumwesigye lwe yategeezezza nti alinayo omusango mu kkooti enkulu, Omulamuzi Ajiji yabaddeyo n’omusango gumu ogw’ettemu oguvunaanibwa Jude Mugumya n’abalala munaana Ssentamu kw’atali nga n’omusango gw’agamba teguliiyo.
Omuwaabi wa Gavumenti agamba nti mu lutuula lwa nga December 11, 2024 Tumwesigye yali yamutegeeza nga bw’agenda mu kkooti enkulu bw’atyo n’asaba bano bakangavvulwe
ku by’okulimba kkooti.