Balaajanidde kkampuni emansa kasasiro alimu obuwunga okukikomya

ABATUUZE ku kyalo Namulugwe ekisangibwa mu muluka gw’e Bulika basabye abakwatibwaako ku nsonga z’obutonde bw’ensi ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono okubataasa okunoonyereza n’okukomya kkampuni emu gye batannamanya eyiwa kasasiro ow’obutwa mu kitundu kyabwe okuliraana enzizi.

Balaajanidde kkampuni emansa kasasiro alimu obuwunga okukikomya
By Joan Nakate
Journalists @New Vision

Okusinziira ku ssentebe w’ekitundu kino Ismael Kivumbi,ono anyonyodde nga kasasiro ono bw’aleetebwa okuva mu bannamakolero  mu tawuni y’e Mbalala,abagya ne bamuyiwa mu mugga ogutambuza amazzi ekintu eky’olese okubaviirako obulabe obw’amaanyi gye bugya ssinga enkuba enaatonnya nga y’amaanyi.

Yategeezezza nti mu kumuleeta bajja bebbirira era nga bamuleeta mu budde obw’ekiro.

Ayongeddeko nga bw’alina obweraliikirivu olw’endwadde eziboolekedde olw’ensonga nti ekifo w’ayiibwa naddala ku kkubo, wa bulabe nnyo awayita abaana baabwe era nga ajjiramu ebintu ebyefaananyiriza obuwunga ebifuumuuka n’empewo ne bigenda mu nzizi gye bakima amazzi ag’okunywa era ge bakozesa mu kufumba.

Kivumbi era annyonnyodde nti kasasiro ono era ayiibwa mu kifo okumpi n’ennimiro z’abantu ekintu ekiyinza okuba eky’obulabe eri ebirime byabwe.

Ssentebe Ismael Kivumbi Ng'anyonyola.

Ssentebe Ismael Kivumbi Ng'anyonyola.

Waaswa Mustafah Ssuna ng’ono ye mutabani wa nnannyini kifo awayiibwa kasasiro ono ategeezezza nga kasasiro ono bw’aviiriddeko emiti gyabwe egyasimbibwa okutandika okufa kyokka nga mwe babadde bajja ensimbi ezibaweerera.

Ono era annyonnyodde n’obujoozi bw’abamuyiwa mu kitundu kyabwe bwe bakozesa oluvannyuma lwa kitaabwe olumu okubasanga n’abagoba mu kifo ekirala we baali bamuyiwa ne basalawo okumuleetera ddala ku ttaka lyabwe era n’asaba abakwatibwaako okubayamba okunoonya kkampuni eno bagikomeko.