Poliisi e Kira eyigga abaana babiri bakiggala abaatolose okuva ku ssomero lya Uganda School for deaf e Ntinda nga July 24.

Omu ku baana abaabuze
Abaana bano kuliko Alex Muhoozi 16 ne Adrine Mubiru 14 nga bano kigambibwa nti baabuuse ekikomera ne bagwa wabweru w'essomero ne bagenda mu kifo ekitannamanyika.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire, asabye oyo yenna alina amawulire okutegeeza poliisi ya Kira ng'ayita ku ssimu nnamba 0740441520 oba 0787345817