Poliisi e Kabale ekutte Herbert Byomuhangi ku bigambibwa nti asse nnyina amuzaala.
Omugenzi ye Mary Kyarimpa 52, ng'abadde mutuuze mu Nyamabale mu muluka gw'e Bushuro mu ggombolola y'e Kitumba mu disitulikiti y'e Kabale.
Kitegeezeddwa nti Herbert, yasoose kukuba n'alumya nnyina bwe yafunyeemu naye obutakkaanya, ekyamuviiriddeko okufa.
Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Nelson Tumushime, agambye nti okunoonyereza, kugenda mu maaso.