WASHINGTON, America
ABAVUGANYA ku ntebe y'Obwapulezidenti mu America basukka mu babiri, newankubadde munna DP Haris D. Kamala 60 ne munna Republican naggagga Donald Trump 78 be basinga okuwulikika.
Mu bavuganya abali ku "bbaloti" mulimu abantu abalala basatu nga nabo engabo bagirumizza mannyo okukajjala ku ntebe eno eyaayaanirwa era be bano wammanga:
Cornel West bw'afaanana.
Cornel West 71: Yeesimbyewo ku bwannamunigina, mukugu mu kunoonyereza (researcher) nga ne gw'aleese okumumyuka munoonyereza munne, Polof. Melina Abdullah nga bawagirwa nnyo banna DP abaakyawa Gavumenti ya Biden olw'engeri gy'asigadde ng'awagira Israel be gye bagamba nti etirimbudde nnyo bannansi b'e Gaza nga tefaayo ku bannalumanya ne bassaalumanya.
Chase Oliver 39, ow'ekibiina kya Libertarian Party ono essira alitadde ku kulwanirira abo abagwira abayingira mu America n'eddembe lyabo abasalawo okukyusa ekikula kyabwe. Ono azze avumirira Trump ng'amuyita obusosoze olw'ebigambo by'azze ayogera ku bagwira ababeera mu America era n'asuubiza nti yeewaddeyo abeere omununuzi waabwe.
Chase Oliver y'ono.
Jill Stein 74 owa Green Party. Ono mu kusooka yali maneja wa kampeyini za Cornel West bwe yali yeesimbyewo mu kamyufu k'ekibiina kya Green Party.
Kyokka West bwe yasalawo okufuuka eyeesimbyewo ku bwannamunigina, Stein n'asalawo akikwatire bendera era n'emuweebwa. Ono naye avumirira nnyo ekya America okuwagira Yisirayiri ku by'okukuba aba Hamas mu lutalo oluyindira e Gaza.
Jill stein bw'afaanana.