Azzeeyo mu ddya gye yanoba n’asibisa bba

OMUKAZI eyanoba mu ddya azzeeyo mu bukambwe n’asibisa bba ku poliisi, bw’amaze n’afuumuula nnyazaala we ne muggya we mu maka.

Nakamya ne Kakonge.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Azzeeyo #ddya #bba #yanoba #amusibizizza

Bya David Musisi Kalyankolo

OMUKAZI eyanoba mu ddya azzeeyo mu bukambwe n’asibisa bba ku poliisi, bw’amaze n’afuumuula nnyazaala we ne muggya we mu maka.

Shanita Nakamya, omusuubuzi w’omu Kampala ye yalumbye bba Abbas Yusufu Kakonge omutuuze ku kyalo Kirangira ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono n’alagira abaserikale be yabadde agenze nabo bamukwate.

Ku baserikale yagasseeko ekibinja kya bakanyama abaafulumizza nnyazaala we, Amina Nakagolo ne muggya we, Aliyaah Namusoke mu maka.

Kakonge ne Nakamya baludde nga balina obutakkaanya obwatuusa Nakamya okuva awaka n’agenda olwo Kakonge n’awasa Namusoke. Namusoke mu kiseera kino asulirira kuzaala.

Nnyina wa Kakonge yagambye nti Nakamya yanoba n’ava mu maka nga mutabani we tannagula poloti we yazimba nnyumba mwe yabagobye kyokka yeewuunya ate okudda n’akola olutalo.

Namusoke

Namusoke

Kyokka Nakamya naye alumiriza nti ennyumba yiye, ye yagizimba ku ssente ye ey’ekikazi era tasobola kukkiriza mukazi mulala kugyeyagaliramu.

Kakonge bwe yakwatiddwa yatwaliddwa ku CPS mu Kampala gye baamusibidde ng’eno gye yasinzidde n’ategeeza nti ye Nakamya yamumala tasobola kumuddira n’agamba nti Nakamya yakozesezza abaserikale ne bamukaka ateeke omukono ku kiwandiiko ekiraga nti amaka agamulekedde ekintu kye yagambye nti tasobola kukikola.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Kakonge bamuvunaana omusango gw’okwonoona ebintu kubanga Nakamya yamuloopye nti yamenya ennyumba yaabwe.

Yagasseeko nti omuwaabi wa gavumenti yabalagidde okumuyimbula ku kakalu ka poliisi nga bw’enoonyereza.