Amyuka akulira Kasangati Health Centre IV asiimye aba tawuni kanso okubakwasizaako

Amyuka akulira eddwaliro lya Kasangati Health Centre IV, Dr. Paul Zirimala asiimye town council y'e Kasangati okutuukiriza kye yeeyama eky'okubazimbira akayumba mwe bagenda okwokyera ng'ebimaze okukozesebwa gamba nga pulasita, kotoni, padizi,empiso n'ebirala.

Amyuka akulira eddwaliro lya Kasangati Health Centre IV, Dr. Paul Zirimala
NewVision Reporter
@NewVision

Bino Dr. Zirimala abyogeredde ku ddwaliro ly'e Kasangati bw'abadde asisinkanye mu town clerk, Umar Lutalo ne Meeya Tom Muwonge abeeyama  nga bayita mu town council y'e Kasangati nga bwe bagenda okussa ssente mulimu guno.

Wiiki ejja omulimu guno gusuubirwa okutandika era nga gwakumalawo obukadde 29.

Town clerk  yategeezezza nga bwe babadde balina okutuusa obweyamo bwabwe kubanga abantu be bakoledde kino be bantu be bamu abasasula emisolo ate.

Ye Meeya Tom Muwonge yeeyamye okusigala nga akwasizaako eddwaliro lino naddala mw'ebyo ebinaabanga biremye nga byetaagamu omukono gwa town council.

Login to begin your journey to our premium content