Amawulire

Amerika ekesse Kim ng’akukusa mizayiro

AMERIKA ekesse North Korea n’ekakasa nti, ekukusa ebyokulwanyisa okubiyingiza e Russia babikozese mu lutalo e Ukraine. Bye bazudde biraga nti kino North Korea erudde ng’ekikola we batuukidde okugigwamu nga lye limu ku mawanga agabadde gavujjirira Russia n’ebyokulwanyisa ng’oggyeeko Iran eguza Russia ‘drone’ z’ekozesa.Omwogezi w’akakiiko akatwala ebyokwerinda mu Amerika, John Kirby yategeezezza nti, kino baludde nga bakirondoola era bakyakyetegereza okusalawo eky’okukolera North Korea mu mbeera eno.

Amerika ekesse Kim ng’akukusa mizayiro
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AMERIKA ekesse North Korea n’ekakasa nti, ekukusa ebyokulwanyisa okubiyingiza e Russia babikozese mu lutalo e Ukraine. Bye bazudde biraga nti kino North Korea erudde ng’ekikola we batuukidde okugigwamu nga lye limu ku mawanga agabadde gavujjirira Russia n’ebyokulwanyisa ng’oggyeeko Iran eguza Russia ‘drone’ z’ekozesa.
Omwogezi w’akakiiko akatwala ebyokwerinda mu Amerika, John Kirby yategeezezza nti, kino baludde nga bakirondoola era bakyakyetegereza okusalawo eky’okukolera North Korea mu mbeera eno.
Abakugu balaze nti, Amerika emaze okukola enteekateeka okutaayiza emmeeri za North Korea eziriko ebyokulwanyisa kubanga kino kimenya amateeka g’ekibiina ky’Amawanga Amagatte UN).
Bino babyasanguzizza mu kiseera nga waliwo obunkenke kubanga ku Lwokusatu North Korea yakubye mizayiro n’ezibuusa South Korea ekintu ekyatabudde Amerika kubanga kyazze ng’eri wamu ne South Korea bagezesa ebyokulwanyisa.
Mizayiro zino emu yagudde ku nsalo ya South Korea ekyabanyiizizza nabo nga bali ne Amerika ne baanukuza bukambwe era baakubye mizayiro eyagudde okumpi
n’ensalo.
Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga ezeebweru mu Amerika yategeezezza nti ejjoogo North Korea ly’ekozesa kati erabika ng’ebasomooza okubeerako eky’obulabe kye bakola kyokka ebyetaagisa okukola byonna babirina kiri gye bali okusalawo
okunyiga eppeesa ery’obulabe oba okuguma Kim asigale nga yeewaga.
Amerika erabudde amawanga amalala nga Iran n’ezingiram ne China nti bakomye okukukuta okuyingiriza ennyindo mu lutalo lwa Russia ne Ukraine kubanga ebinaavaamu bijja kusinga kunyiga bo.
Okulabula kwabadde kwakafuluma, ate North Korea n’egezesa emizinga endala eyakkakkanyizza amawanga ag’omuliraano era Japan yalagidde bannansi baayo okugira nga beggalidde mu mayumba gaabwe nga bwe beetegereza embeera egenda mu
maaso. Olwokuna ku makya, North Korea yakedde kusisimula baliraanwa baayo bwe yagezesezza mizayiro ezikuba ewala ezisobola okukuba ku lukalu lwonna lw’eyagadde
okulumba ng’esinziira ewaayo.
Mizayiro gye baagezesezza esobola okukuba mu buwanvu bwa kkirommita 760 era yatumbidde mu bbanga mu buwanvu bwa kkirommita 1,920

Tags: