OMUBAKA w’omukago ogugatta amawanga ga Bulaaya ‘European Union’ mu Uganda Jan Sadek atenderezza oluyimba lw'Ekitiibwa kya Buganda n’agamba nti lwe lumu ku nnyimba za mawanga eziri ku ntikko.
Ambasada Ng'atimba Ssewagudde Fulaaga
Bino abyogedde ba Ganda Boys, Daniel Sewagudde ne Denis Mugagga bwe baabadde bamukyalidde ku kitebe ky’omukago guno ekikulu mu Kampala.
Mu kafubo kaabwe, atenderezza emirimu egikoleddwa ba Ganda boys naddala mu kutumbula ekitiibwa kya Buganda, n’okwagazisa abantu ebyabwe n’asaba bagende mu maaso era beenyiigire ne mu bintu ebirala.
Ono abagabudde ka kakaawa akakolebwa mu mmwanyi ya waano ng’emu ku ngeri y’okwongera okuttaanya ku migaso gy’emmwaanyi nga akyesigamya ku mwoleso gw’emmwaanyi ogwabadde e Munyonyo omwegatidde amawanga ga kirimanyi mu kulima emmwanyi kiyite G25.
Wano we baamutegereeza nti nabo baatandika dda okutumbula emwanyi bwe baakolamu kaawa ayitibwa GFC (Ganda Foundation Coffee) Era ng’emwanyi zino baziggya Mbale.
Ambasada Ng'akwasa Ba Ganda Boys Ettu.
Oluvannyuma waabaddewo okuwanyisiganya kw’ebirirabo era mabasada yabatiimbye zi fulaaga eziraga enkolagana ya Uganda n’mukago gw’amawanga ga Bulaaya nabo ne bamuwa ‘chocolate’ gwe beekolera gwe batuuma Baziira Choco.
Kino bagambye nti kyava ku mulangira David Kintu Wasajja okubalangirira ng’abazira ba Buganda olw’okutumbula ekitiibwa kya Buganda bwe baali batongoza enkolagana y’okutumbula Ekitiibwa kya Buganda wakati wa Vision Group ne ba Ganda Boys.