Omubaka wa Lubaga South, Aloysious Mukasa aguze emijoozi gy’emisinde gya mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag'okubeerayo wiiki eno ku Ssande nga April 16, 2023.

Omubaka Mukasa n'abamu ku bantu b'akulembera e RUbaga South.
Mukasa emijoozi gye yaguze yagikwasizza omususunzi wa mawulire ow’oku ntikko ku Bukedde Fa Ma, Ronald Ssebutiko era emijoozi gino gyabadde gigiwerera ddala akakadde kamu n’ekitundu.

Mukasa (ku kkono) ng'akwasa Ssebutiko emijoozi ku kitebe kya Vision Group eggulo.
Bwe yavudde ku Bukedde, yayolekedde ebitundu bino mu Lubaga okuli Kajumbi, Nanfuka, mabiito, Mutundwe ne Busega ng’ekimukozesa kino abantu bangi abaagala okwetaba mu misindde gya Kabaka naye nga tebalina busobozi, kwe kusalawo okubadduukirira n’abawa emijoozi gino 75.
Abalonzi basiimye omubaka waabwe okubadduukirira okwetaba mu misinde gya Ssaabasajja Kabaka wa Buganda.