AKULIRA ekitongole kya KCCA Hajjati Sharifa Buzeki atabukidde abakkampuni ya Nabugabo Updeal Joint Venture olw’okusolooza ssente mu bantu ate ne babalekera kasasiro ekivumuviiriddeko okwetuuma.
Kino kyaddiridde Hajjati Buzeki okugenda e Lugala mu munisipaali y’e Lubaga mu nteekateeka ya Weyonje abatuuze ne bamutegeeza nga abakkampuni ya Nabugabo erina okutwala kasasiro bw’erudde okumutwala ekivuddeko okubeera n’entuumu so nga basasula ssente era ne baweebwa ne lisiiti ze baamulaze.
Bamutegeezezza nti aba Nabugabo baasemba okutwala kasasiro mu December 2025 nga tebakomangawo okutuusa lwe baalabye nga ye ke mwennyini akulira KCCA yeesitukiddemu.
Hajjati Buzeki yalagidde abakozi ba Nabugabo bayitibwe era kalabaalaba w’emirimu gya Nabugabo mu Lubaga Jamil Kisibu n’atuuka n’amukunya ekibaviiriddeko okulemwa okutwala kasasiro ng’abantu bamaze okumusasulira.
Yagambye nti obutatwala kasasiro kiviirako abantu okumala gamumansa kuba babeera tebalina we bamuteeka abalala ne bamusuula mu mifulejje era n’alagira kasasiro yenna aba Nabugabo bamusombe mu bwangu.
Yagaseeko nti era KCCA egenda kuddamu okulaga nókuyita amakampuni agalina obusobozi bwókuyoola kasasiro gasseemu okusaba kwago basobole okususunsulamu bafune ago agalina obusobozi kuba ekibuga Kampala kirina okubeera nga kiyonjo.