Amawulire

Abatuuze balaajanidde aboobuyinza okubayamba ku mbwa ezibafuukidde

ABATUUZE mu zzooni ya Kibira A cell e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, bongedde okulaajanira abakulembeze ku munisipaali ya Ssaabagabo Makindye e Wakiso, okubayamba ku mbwa , ezibafuukidde ekizibu.

Abatuuze balaajanidde aboobuyinza okubayamba ku mbwa ezibafuukidde
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

ABATUUZE mu zzooni ya Kibira A cell e Masajja ku luguudo lw'e Busaabala, bongedde okulaajanira abakulembeze ku munisipaali ya Ssaabagabo Makindye e Wakiso, okubayamba ku mbwa , ezibafuukidde ekizibu.

Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino, Wasswa Luwandagga, agambye nti baludde nga balaajanira be kikwatako okubayambako nti naye tewali kikolebwa.

Annyonnyodde nti embwa zino, zaali z'abantu abaabeera nga mu kibangirizi ky'oluguudo lwa Kampala Jinja highway , okuva e Salaama okuyitira ddala e Bbunga, mwe baagenda baamenya amayumba basobole okuyisaamu oluguudo luno.

Annyonnyodde nti , bano mu kugenda, baaleka embwa nga tewali azirabirira era nazo, ne zongera okuzaala, nga ze zimu ku zibatigomya, kwe kusaba be kikwatako babayambe.

Anokoddeyo n'oluguudo oluva e Salaama okuyita ku Binzaali nti luli mu mbeera mbi nga n'omwala , mu kitundu ekyo, gwazika dda , n'asaba KCCA ebayambeko.

Tags:
Amawulire
Kuyamba
Kulaajana
Buyinza
Batuuze
Mbwa