Akabenje katuze 4 e Naama-Mityana

Sep 14, 2023

Abantu bana bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende.

Akabenje katuze 4 e Naama-Mityana

Godfrey Kigobero
Journalist @Bukedde

Akabenje kano kaabaddewo mu kiro ekyakeesezza leero ku kyalo Mumusa mu disitulikiti y'e Mityana, mmotoka ekika kya Isuzu Elfu nnamba UBH 369 J bw'etomereganye ne FUSO nnamba UBK 415 N ebadde eva e Mityana okudda e Mubende .

Emu ku mmotoka eyaweddewo.

Emu ku mmotoka eyaweddewo.

Ddereeva wa FUSO nga kati bamuyigga, kigambibwa nti abadde agezaako okuyisa lukululana, kwe kuyingirira Elfu ebadde etisse omusenyu ne bambalagana bwenyi ku bwenyi , ddereeva n'abalala basatu ababadde mu Elfu ne bafiirawo.

Robert Bukenya, ddereeva wa Elfu era nga mutuuze w'e Naama e Mityana, afiiriddewo n'abalala basatu ababaddeko  era nga mu kiseera kino emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro e Mityana, okwongera okwekebejjebwa .

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Racheal Kawala, agambye nti omuyiggo gwa ddereeva wa FUSO gugenda mu maaso era ng'emmotoka ziggyiddwawo ne zitwalibwa ku poliisi y'e Mityana ng'okubuuliriza bwe kukolebwa.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});