Maama atabuse bw'atuuse awaka n'asanga nga bba apakidde engoye ze mu kaveera n'anoba, maama alayidde nti kikafuuwe omusajja ono okumusuulawo aleke nga amukaddiyizza kuba bawangadde bombi emyaka 30. Ensonga asazeewo kuzitwala mu ofiisi y'amaka, abaana n'eddembe ly'obuntu.