Abatuuze batwalidde amateeka mu ngalo bwebasaanyizzaawo amaka g’omutuuze eyasangiddwa n’omulambo mu nnyumba gweyatereka era nekizuulibwa nti gwe gwa munnaabwe eyabadde abuze! Bano batuuze ku kyaalo Kalongo mu gombolola ye Kaliisizo Rural mu disitulikiti ye Kyotera.