Kitegeerekese nti omusuubuzi omugundivu e Masaka Bosco Ssenyonjo n’abaana be babiri be bafiiridde mu kabenje akagudde ku luguudo lwa Ntebe Express Highway enkya ya leero.
Omwogezi wa poliisi y’ebiduuka mu ggwanga, Micheal Kananura akakasizza akabenje kano k’agamba nti kavudde ku kuvugisa ndiima.

Mmotoka mwe baabadde
Kananura ategeezezza nti akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 12:30 ez’oku makya ga leero nga mmotoka ekika kya Land Cruiser UBG 734 S, ebadde eyolekera e Ntebe.
Ayongeddeko nti mu eno, mubaddemu Ssenyonjo, mukyala we n’abaana baabwe babiri era eremeredde omugoba waayo n’etomera ekiseminti ne yeefula emirundi egiwerako okukkakkana nga Ssenyonjo n’abaana be bafiiriddewo ate omukyala n’agendera ku bisago eby’amaanyi.

Omugenzi bw'abadde afaanana.
Ategeezezza nti poliisi esobodde okuddusa omukazi mu ddwaaliro lya Grade B e Ntebbe okufuna obujjanjabi ate emirambo gy’abagenzi ne gitwalibwa mu ddwaliro e Mulago.
Kigambibwa nti bano baabadde baliko ow’oluganda gwe bagenda okunona ku kisaawe nga baabadde batuuze b’e Masaka.