Abeenyigidde mu mivuyo gya Kamyufu ka NRM mu kibuga bakwatiddwa!

POLIISI y’e Kabalagala ekutte abantu 12 olw’okwenyigira mu mivuyo gy’ebyokulonda mu banaakwatira NRM bendera mu kuvuganya kwa bonna ku bifo byóbwakkansala ku magombolola.

Abeenyigidde mu mivuyo gya Kamyufu ka NRM mu kibuga bakwatiddwa!
By Eria Luyimbazi
Journalists @New Vision
#Kulonda #Mivuyo #NRM #Kibuga #Kamyufu

POLIISI y’e Kabalagala ekutte abantu 12 olw’okwenyigira mu mivuyo gy’ebyokulonda mu banaakwatira NRM bendera mu kuvuganya kwa bonna ku bifo byóbwakkansala ku magombolola.

Ono Naye Nyabadde Ataataaganya Ebyokulonda Ku Luwum!

Ono Naye Nyabadde Ataataaganya Ebyokulonda Ku Luwum!

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala némirira, Luke Owoyesigyire yagambye nti emivuyo mu kulonda gyolekedde mu bitundu okuli Kansanga, Namuwongo  ne Kibuli nga e Kansanga ne Namuwongo waliwo ebibinja by’abavubuka ebyabadde bigezaako okugootaanya okulonda wabula abaserikale ne bakwatako 10 ne batwalibwa ku poliisi e Kabalagala abalala ne badduka.

Yagambye nti ku Villa Park ekiri mu Kibuli abaabadde bakuliddemu okulondesa , Sharon Sabiti ne Abdul Nankunda baakwatiddwa  olw’okugezaako okukuutiza ebyavudde mu kulonda ne baggulwako omusango oguli ku ffayiro nnamba  SD 73/16/08/2025.

Abaserikale Nga Baliko Byebbagamba Abaabadde Bagenze Okulonda Mu Kamyufu Ka Nrm Ku Utc Village

Abaserikale Nga Baliko Byebbagamba Abaabadde Bagenze Okulonda Mu Kamyufu Ka Nrm Ku Utc Village

Mu Kampala wakati, mu muluka gwa Nakivubo IV poliisi yayiye abaserikale baayo ne balondoola awaabadde okulonda okutangira abakozi b’efujjo era abamu ne bakwatibwa.

Ku Luwum Street, aduumira poliisi ya CPS, SP Tukundane yalagidde bonna abaabadde bazze okulonda basooke babakebere oba amannya gagwe gali mu Ligesita (soma register) n’alabula bonna abataliimu nga basimbye layini nti baakukwatibwa era abamu baakwatiddwa ne batwalibwa.