OBUKRISTU bwaffe, ekikolo kyabwo kwe kukkiriza nti Yezu yazuukira. Okukkiriza kuno mulimu okusoomoozebwa kunene. Si kuffe ffekka abataalaba ku Yezu mu bulamu bwe naye n’abo abaali naye mu bulamu bw’ensi eno. Engeri gye yafaamu teyawa maanyi kukkiriza nti azuukidde. Anti n’enfa ye y’abuswavu nnyo. Okufa ng’akomererwa ku musaalaba yali nfa y’abatemu n’abo abaali batalina kitiibwa ng’abantu.
Yezu yakola ebyamagero bingi naye ku nkomerero, byonna bye yakola ne biraga ng’omuntu eyafiira obwereere ataalina kalungi ke yakola. Bonna abaali naye n’abatume be bennyini baalowooza nti azikidde. Petero kye yava agamba nti abaakikola baakikola mu butamanya. Ekikulu kubonerera badde mu kkubo ery’obulokofu (Ebikolwa by’abatume 3,13-15).
Nga Yoanna bw’atugamba nti “okuzuukira kwa Mukama waffe tekwali kwangu kukkiriza.” Bonna baali balowooza nti azikiridde era buli lwe yalabikiranga abayigirizwa be baasookanga kutya. Abamu baalowoozanga nti balaba muzimu. Kyeyavanga asookanga okubagamba nti mube n’emirembe, muve mu kutya, mukkirize nti nzuukidde. Bwe baamala okukkiriza ne balyoka bamutegeera, n’okujjula essanyu.
Abaali bali mu kutya nga n’okwekweka nga beekwese, essanyu lino bweryabajjula, ne balangirira n’obuvumu nti gwe baali balowooza nti aziikiddwa, kati mulamu, awangudde omulabe oyo ffenna gwe tusinga okutya, anti omulabe oyo ye “kufa”. Nti era buli akkiriza kino naye omulabe oyo abaamuwangudde. Abakkiriza kino beekolamu ekibiina kye tuyita abakkiriza nti Yezu yazuukira, ekibiina ky’Abakristu, ekibiina kya bannamazuukira. Era oluyimba lwabwe olw’obuwanguzi ye Alleluia.
Bakristu baganda bange, Amazuukira ga Mukama waffe gatuggyamu okutya kwonna ne gatuwa essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.
Awo nno obukristu obusimbiddwa ku kukkiriza nti Yezu yazuukira bwe bujjudde emirembe n’essanyu. Awo nno essaala yaffe, ebe nti “Ayi Mukama twongeremu okukkiriza!” Oluyimba lwaffe ng’abawanguzi abawangudde omulabe Walumbe ye Alleluia. PasIka ye Ssekukkulu yaffe.