ABABBISA ebijambiya ne zi ppeeva bongedde okutaama bwe baalumbye abantu ku byalo bibiri okuli Namagoma A ne Nakitokolo cell mu Kyengera Town Council ne batema abantu era nga kati bali mu malwaaliro bapoocha.
Obulumbaganyi buno bwabaddewo wakti we ssaawa 4:00 ne 5:00 ez’ekiro era ng’abavubuka abakola ebikolwa batambulira mu ggulupu y’abantu nga basatu wabula bateegera mu bufo obulimu enzikiza.
Omu kubaatuusiddwako obulumbaganyi
Omu ku batuuze eyagudde ku kibambulira kya bakyala kimpadde bano,Abdul Mutaawe nga mu kiseera kino ali mu ddwaaliro e Rubaga ategeezezza nti zaabadde ssaawa 4:00 nga ava ku mulimu e Busega nti wabula bweyatuuse w’akyaamira okugenda ewaka abavubuka basatu abaabadde beekweese mu kasiri k’ebikajja baamuzinzeeko ne bamukuba zi ppeeva ku mutwe ne bamuleka ng’ataawa ne bakuliita ne ssente ze wamu n’essimu ye.
Mutaawe ayongeddeko nti mu kiseera kino obulumi bw’alimu buyitirivu nti kuba yafunye ebiwundu biyitirivu ku mutwe nti nga kati n’okuwulira takyawulira bulungi wabula nga asabye poliisi okukola ekisoboka okunoonyereza ku bantu abaamukozeeko obulumbaganyi buno asobole okufuna obwenkanya.
Omulala eyagudde mu babbi bano,Saad Ssemwanga ng’ono ategerekese nti musomesa ku ssomero erimu e Nakitokolo naye yatemeddwa bubi nnyo era nga mu kiseera kino obujjanjabi abufunira mu ddwaaliro lya Nnyange Medical Center e Nabbingo.
Embeera eno wegidde nga tewannayita na wiiki ziwera bbiri nga bakyala kimpadde bano baalumba ekyalo kye Namagoma ne batema abawerako oluvannyuma ne babaleka nga bataawa ne bakuulita n’ebintu byaabwe nga embera eno yaviraako n’omuvuzi wa booda mu kitundu kino eyategerekako elya Pius okulugulamu obulamu.
Omu kubatuuze ng'annyonnyola
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiliraano,Luke Oweyesigyire yasaba abantu mu kitundu okuba abakkakamu nti baamaze dda okukwatagana ne poliisi ye Nsangi okunoonyereza ku bakyala kimpadde bano.
Sentebe we Nakitokolo cell,Augstine Walakira ategeezezza nti ababbi bano beeyambisa obudde nga amasannyalaze tegaliiko wabula ng’asabye poliisi okubongera obukuumi kuba embeera ekkaaye.
Difensi w’ekyalo kye Namagoma,Saalongo Ramanzan Kasagga ategeezezza nti poliisi ebadde ekoze ekisoboka okubayamba nti wabula bakyala kimpadde bano bakyalemedde mu kitundu kyabwe nti nga kati nabo basobeddwa eky’okuzaako.
Kkansala we Nakitokolo ku disitulikiti,Ali Ssennyonjo,ategeezezza nti embeera eno nabo ng’abatuuze ebasuseeko bw’atyo n’awanjagira poliisi ebongere ku bukuumi.