KKAMPUNI ya Vivo Energy Uganda etongozza kkampeyini etuumiddwa ‘Powering Your Next Move’ ng'eno egendereddwamu okuyamba ku bannabizinensi okubanguyiza ku nkola y'emirimu mu ggwanga.
Omukolo ogw'okutongoza kampeyini eno gwayindidde mu Kampala nga gwetabiddwako abakungu okuva mu bitongole ne kkampuni ezenjawulo. Baakubaganyizza ebirowoozo ku butya we bagenda oganyulwa mu kampeyini eno.
Dayirekita wa Vivo Energy Uganda Joanita Menya nga ayogeraganya n'omu ku bannabizinesi
Dayirekita wa Vivo Energy Uganda, Joanita Mukasa Menya yategeezezza nti kampeyini eno yaakutambulira mu bantu abatambuza bizinensi ennene nga bayita mu kubatuusaako obuweereza mu budde omuli okusomesa baddereeva, okuddaabiriza emmotoka nga baziwa saaviisi saako n'okwongera ku mutindo gw'amafuta ne woyiro ebitundibwa.
B2B Maneja wa Vivo Energy Uganda, Jemima Aupata yalambuludde nti baakwongera okwogeraganya ne bakasitoma baabwe mu kaweefube ow'okutereeza obuweereza era Bannayuganda babasuubiremu obuweereza obwenjawulo.
Dayirekita wa Vivo energy Uganda ,Joanita Mukasa Menya bwe yabadde atongoza kampeyini eno