Amawulire

Katikkiro akubirizza abantu okwettanira enkola ya bulungibwansi

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akunze Obuganda okwetanira enkola ya Bulungibwansi ng'ekkubo ery'okubayigiriza obuvunanyizibwa ssaako okuleetawo obumu wakati waabwe.

Katikkiro Mayiga ng'aggulawo oluguudo lwa Mayiro ya Bulungibwansi e Busukkuma nga October 8,2025
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akunze Obuganda okwetanira enkola ya Bulungibwansi ng'ekkubo ery'okubayigiriza obuvunanyizibwa ssaako okuleetawo obumu wakati waabwe.

Katikkiro Mayiga ng'ayogerezeganya ne Matia Lwanga Bwanika

Katikkiro Mayiga ng'ayogerezeganya ne Matia Lwanga Bwanika

Obubaka buno busomeddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ku mukolo Obwakabaka kwebujaguliza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez'ebitundu n'okujaguza ameefuga aga 63 nga gubadde ku mbuga y'eggombolola ye Busukkuma mu ssaza lye Kyadondo.

Kabaka era akuutidde abavubuka okukozesa Tekinologiya mu mirimu gyaabwe gisobole okutambulira ku mutindo ogwa waggulu.

Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng'ayogera ne Namwama Augustine Kizito Mutumba Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka. Ku ddyo ye Saabaganzi Emmanuel Ssekitoleko

Katikkiro Mayiga (ku kkono) ng'ayogera ne Namwama Augustine Kizito Mutumba Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka. Ku ddyo ye Saabaganzi Emmanuel Ssekitoleko

Katikkiro Mayiga asinzidde ku mukolo guno n'ategeeza Bannabyabufuzi abava mu Buganda okulwanirira enfuga ya Federo kubanga Buganda gyeyetanira era n'asaba abaami okufuba okunyweza Abatangole okutambuza emirimu.
 
Ate Minisita wa Bulungibwansi agambye nti obukulembeze ku mitendera egy'enjawulo mu gavumenti ez'ebitundu bwebuyambye okutumbula Bulungibwansi mu bitundu byonna. 

Katikkiro ng'asimba omuti

Katikkiro ng'asimba omuti

Minisita wa gavumenti ez'ebitundu, Joseph Kawuki yasinzidde ku mukolo guno n'akubirizza abaami okwongera amaanyi mu buwereeza.

Omwami w'essaza lya  Kyadondo, Hajj Ahmed Magandaazi yategezezza nga bwebalina enteekateeka okuli Okuzimba ekisaawe ne Pulojekiti endala ezikulakulanya Buganda. 
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze bangi okuli Abaaliko ba Katikkiro ba Buganda abaawummula, bannabyabufuzi abakulembeddwamu Eyaliko Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda, Edward Kiwanuka Ssekandi,  Omubaka Omukyala owa Wakiso mu Palamenti Betty Naluyima, Ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka Augustine Kizito Mutumba Namwama n'abalala

Tags: