Mu gino mubaddemu okubaka, emisinde, obugaali, ekigwo ekiganda, okulya n'omupiira gw'ebigere.
Emizannyo gino gigendereddwaamu okusanyusa abatuuze b'ekitundu kino nga beetegekera okuyingira omwaka omupya era ng'abagyetabyemu baweereddwa ebirabo eby’enjawulo okuli; ssente enkalu, satifikeeti,ebikopo n'emijoozi ebibakwasiddwa Kiwanuka.