Amawulire

Abe Karamoja bakkirizza okusasula ensimbi z'okugema ebisolo

ABALUNZI be bisolo okuli Ente , Embuzi n'Endiga mu bitundu bye  Karamoja basabidwa okukkiriza okusasula ensimbi 8000 ez'okuyambako okugema  ebisolo byabwe.

okugema ente
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

ABALUNZI be bisolo okuli Ente , Embuzi n'Endiga mu bitundu bye  Karamoja basabidwa okukkiriza okusasula ensimbi 8000 ez'okuyambako okugema  ebisolo byabwe.

Bino by'ogeddwa omukungu we kitongole kye by'obulimi no bulunzi Dr Ann Rose Ademun mu kugema ebisolo mu bitundu bya Karamoja okuli Amudat ne Moroto nga kino kigenderedwamu okufuna ennyama eri ku mutindo omulungi ogukirizibwa ku katale kensi yonna nga enteekateeka eno ekulembedwamu ekitongole kya Food and Agricultural Organization (FAO) nga ekwatagana ne kitongole kya Gavumenti ekye by'obulimi ekimanyibwa nga MAAIF.

Abasawo be bisolo  mu bitundu bye Karamoja nga bagema ente  okutangira Kalusu .

Abasawo be bisolo mu bitundu bye Karamoja nga bagema ente okutangira Kalusu .

Ono agambye nti gavumenti telina busobozi bwakugula ddagala lyonna elyetagisa era nti esobode okugula eddagala erigema Kalusu lya  obukadde 63 naye nti tesobola kugula ddagala lya buwumbi 327 kubanga eby'okukola bingi nnyo n'olwekyo  abalunzi balina okwekwatirako nga batundayo wakiri  ente emu era nga sente ezivaamu zisobola okugema ente zonna , wano wasinzide nasaba abalunzi okweyamba basobole okugema ente zabye nebisolo ebirala kibayambe okufuna ebisolo ebivaamu enyama etukaganye nomutindo basobole okutunda bafune ensimbi okuva mu katale kensi yonna .

Ezimu kundwadde ezigemeddwa kuliko Kalusu , okufuyira enkwa ne birala  ebirwadde nga eno enteekateeka egendeledwamu okulaba nga enyama ya Uganda etuukagana n'omutindo okusobola okutundibwa mu katale kensiyonna kwosa nokulaba nga ebisolo bino bisobola okugumira embeera yonna era nga  elubiridwamu okugema embuzi 1.2 million , endiga 400,000, ente 600,000 era nga mukiseera kino bakagema embuzi nendiga 240,000 era nga okugema ente okugema kutuuse ku bitundu 75  .

Hon Rose Kabagyeni omuwabuzi w'omukulembeze w'eggwanga ku nsonga z'obulimi ng'ayambako omusawo w'ebisolo okugema embuzi e Karamoja.

Hon Rose Kabagyeni omuwabuzi w'omukulembeze w'eggwanga ku nsonga z'obulimi ng'ayambako omusawo w'ebisolo okugema embuzi e Karamoja.

Dr  Bessong Willington Ojong okuva mu kitongole kya FAO agambye nti kirungi nnyo okuba nga bagema ebisolo kubanga kyakuyamba okutangira endwadde mubisolo ate nokusobola okukuukagana nomutindo ogukirizibwa mukatale kensi yonna nolwekyo abalunzi bonna balina okwetanira enteekateeka eno ate nga yakugenda mumaaso okwetoolola ebitundu byona ebirina obulwadde bwa Kalulu nendwade endala ez'ebisolo .Ono agambye nti ekitongole kya FAO kyakulaba nga kiyamba okuwaayo edagala lyokugema nokufuna ebikozesebwa abasawo okuli empiso zokugema , okukunganya ebikwata kubisolo nebirala kwosa nokulaba nga abasawo bakola omulimu guno mumbeeramenungi esanidde .

Assembyeyo nga agamba nti ensolo ezenjawuulo ezitambula okuva ku mulirwano okuli Kenya zezireeta endwadde , bagala okulaba nga ebisolo bino bifuna amazzi gokunwa nebintu ebirala ate bakwongera kunaku zokugema okusobola okugema ensolo nyingi

 

 

Tags: