Bya Benjamin Ssemwanga
ABASUUBUZI abakolera mu katale e Gaba mu munisipaali y’e Makindye bali mu kusoberwa olwa kaabuyonjo gye balina emu etamala okusinziira ku muwendo gwabali mu katale omungi ddala nga bagamba kyalibaviirako endwadde eziva ku bucaafu.
Bagamba nti n’emu gyebalina obudde bwe bagikozesaamu butono ddala nga n'abamu balina okufuna amagezi amalala ogufulumamu nga tebakozesezza kaabuyonjo eno.
Jimmy Kamya Amyuuka Sentebe Lc I Ng'aliko By'ayogerako N'aba Kcca Ku Nsonga Z'obuyonjo E Gaba.
Alex Musisi, omu ku basuubuzi agamba KCCA ng' eri wamu n’ekitongole eky’obwannakyewa baabazimbira kaabuyonjo mu 2019 naye n'okutuusa akati tennaba ku ggulwawo nga tebamanyi nsonga egiremesa.
Jimmy Kamya, amyuuka ssentebe LC I Gaba Trading agamba pulojekiti yajja ey’okwongera ku kaabuyonjo abantu mwe bagenda mu katale e Gaba era n'ezizimbibwa mu 2019 ng' enteekateeka eno ekulembeddwamu KCCA.
Wabula Kamya agamba okuva kaabuyonjo eno lwe yazimbibwa nga kati giweze emyaka ebiri nga tebagyikozesa nga tebamanyi ensonga eviirako kino okubeerawo.
Abasuubuzi bano bali mu kutya okulumbibwa endwadde eziyinza okubakwata nga ziviira ddala ku bucaafu.