Bya Moses Lemisa
ABATUUZE n’abakulembeze e Bwaise balaajanidde KCCA ku ssomero lye bagamba nti lyafuuka mpuku y’abakozi b’ebikolobero.
Essomero erya St. James COU lisangibwa mu Bokasa Zooni mu muluka gwa Bwaise III e Kawempe nga gavumenti yagenda okuyimiriza amasomero olw’e kirwadde kya COVID-19 lyo lyali yaggalwa dda nga kati abamenyi b’amateeka lye beeyambisa ng’empuku yaabwe .
Richard Nyanzi ne Swabula Namuyiga bakansala b’omuluka guno baategeezezza nti essomero lyatandikibwawo mu 2001 n’eriggalwawo mu 2011 olw’enkuba eyali etonya n’erijjula amazzi.
Baagasseeko nti mu kiseera kino abamenyi b’amateeka bwe bamala okubba lye bakozesa ng’abamu ku bantu baalifuula lya kwerigomberamu .
Bongeddeko nti abakulembeze abaali mu kkanso y’ekisanja ekiwedde baayisa obukadde 50 okuliddaabiriza naye n’okutuusa kati tewali kyali kikoleddwa we basabidde b’ekikwatako okusitukiramu liroongosebwe abaana baddemu balisomeremu kuba lyali liyamba ku bazadde bamufunampola .
George William Kalule 80 gwe baateekawo okulikuuma yagambye nti buli mwezi baali bamusasula emitwalo 50 nga kati bamaze omwaka gumu n’ekitundu nga tafuna ssente nga buli lw’agenda ku ggombolola e Kawempe bamubuzaabuza nti abaali bakola ku nsonga ze baavaamu mu ofiisi kyokka nga mulwadde talina ssente zimutwala mu ddwaaliro.
Juliet Bukirwa omwogezi wa KCCA yategeezezza nti ensonga eno agenda kugitegeeza b'ekikwatako baginoonyerezeko okuzuula ekigenda mu maaso ku ssomero lino.
Ssentebe wa Bokasa Zooni Kawooya Kagimu yagambye nti essomero lino lyazimbibwa ekitongole kya Plan International n’erikwasa abatuuze n’abakulembeze b’ekkanisa kuba be baawaayo ettaka kwe lyazimbwa naye bukya liggalwawo bazze bawandiikira b’ekikwatako lidaabirizibwe kuba lye baalina lyokka erya UPE mu kitundu.