Amawulire

Ensonga z’okuziika omugagga w’e Masaka ziyingiddemu ab’Ekika

EBY’OKUZIIKA omugagga w’e Masaka, John Bosco Ssennyonjo Bitanda,45, biyingiziddwaamu abakulu b’ekika ky'e eky’Ennyonyi Namungoona.

Ensonga z’okuziika omugagga w’e Masaka ziyingiddemu ab’Ekika
By: Dickson Kulumba, Journalists @New Vision

EBY’OKUZIIKA omugagga w’e Masaka, John Bosco Ssennyonjo Bitanda,45, biyingiziddwaamu abakulu b’ekika kye eky’Ennyonyi Namungoona.

Amaka Ssennyonjo ge yazimba ku Butaka e Kyalusowe.

Amaka Ssennyonjo ge yazimba ku Butaka e Kyalusowe.

Ku Lwokuna, Katikkiro w’ekika kino, Richard Musajjakaawa yasisinkanye enjuyi ezigugulana okuli olwa nnamwandu Jane Nabukeera n’olwa maama w’omugenzi, Maria Norah Nakayiza ne bagenda mu ew’Omulamuzi wa Kkooti Enkulu, Victoria Nakintu Katamba ne babaako ensonga ze battaanya.

 

Katikkiro Musajjakaawa yategeezezza Bukedde eggulo nti, Omulamuzi yagambye nti, abadde alinda abakulu mu Kika baveeyo ku nsonga eno era nti, oluvannyuma lw’okubaako bye boogerezeganya, nnamwandu ne maama baasonyiwaganye era ne beegwa ne mu kifuba.

Omugagga Ssenyonjo bw'abadde afaanana

Omugagga Ssenyonjo bw'abadde afaanana

Omulamuzi yasabye katikkiro Musajjakaawa abeeko ebintu by’amuwa mu bwangu okuli ebifo eky’e Kyalusowe n’eky’e Mpugwe nga kw’ajja okusinziira okuwa ensala ku wa awatuufu we bateekeddwa okuziika.

 

SSENNYONJO ABADDE WA MUTUBA
Katikkiro Musajjakaawa yannyonnyodde nti, omugenzi abadde mukulu nnyo mu Kika kubanga y’abadde omukulu w’Omutuba gwa Lukindu mu Ssiga lya Lukindu e Kyalusowe nga lino ly’erimu ku Masiga amakulu mu kika ky’Ennyonyi Namungoona.

Nabukeera nnamwandu

Nabukeera nnamwandu

Obukulu obwo bwamukwasibwa mu October 2023 ng’adda mu bigere bya kitaawe Matia Lukindu e Kyalusowe. Bwe yali asumika Ssennyonjo okudda mu bigere bya Kitaawe naye eyasikira bakadde be ng’Omutuba bwe gutambula, Katikkiro Musajjakaawa yamukuutira okukuuma Obutaka buno awatali kukyusa nnono yonna nga bakadde be bwe bazze bakola.

 

Enkaayana ku kifo Ssennyonjo w’alina okuziikibwa zaatandikirawo ku Mmande ekiro wakati w’abagagga mikwano gye n’abaffamire.

 

Abagagga nga bali ne nnamwandu Nabukeera bagamba nti, Ssennyonjo yalaama kuziikibwa Mpugwe awali enju ezimbibwa ate aba ffamire nga bakulembeddwa maama w’omugenzi nga bagamba nti, alina kuziikibwa Kyalusowe ku kiggya.

 

Nnamwandu ensonga yazitutte mu kkooti, wabula ne balemwa okukkaanya era omulamuzi yabalagidde okudda mu kkooti ku Lwokuna nga March 26, 2026.

 

BYE BOOGERA KU KUKYUSA EKIGGYA
Ssewava Sserubiri Walungama nga yaliko Minisita e Mmengo, agamba nti, ekiggya kimu ku by’obugagga bw’Ekika noolwekyo okukyusa okuva ku kiggya ekimu okudda ku kirala olina okusooka okusaba olukusa okuva mu bakulu abatwala ekiggya oba ffamire eziika awo.

 

Sserubiri anyumya nti, “Ekimu ku bikyusisa ekiggya kwe kuba ng’otambuza omulambo olugendo luwanvu, okugeza ng’obeera Singo ate nga oziika Buddu, awo oyinza okusaba n’owa ensonga zo, n’olaga obunene bw’ettaka, abantu oba ffamire ezinaaziikwa wano, toteekako bantu balala kubanga oyinza okuyingiriza Ekika abantu abalala abanaakifuukira ekizibu,” Sserubiri bwe yagambye.

 

Ensonga endala ereetera owooluganda okukyusa ekiggya kwe kuba nga wabaddewo okuyombagana wakati w’abooluganda nga kizibu okuleeta emirembe amangu, ate okulala kuyinza kuva ku Ddiini nga buli emu eyagala eziike abantu baayo mu kifo eky’enjawulo.

 

Kigambibwa nti, emu ku nsonga abawagira ekya Ssennyonjo aziikibwe ku kiggya kya ffamire ekikulu kwe kuba nti, abooluganda baali baatunda ettaka lyakyo kyokka n’alinunula.

 

Eyaliko Minisita w’ebyobuwangwa n’ennono mu Buganda, Denis Walusimbi Ssengendo agamba nti, okukulembera Omutuba bakadde be baalaba nti, ajja kusobola n’okununula obutaka bwabwe, ky’ekimu kw’ebyo nga tekimukyusisa kiggya.

 

Walusimbi agamba nti, bw’abeera yalina ekirowoozo ky’okukyusa ekiggya, teyandikkiriza buvunaanyizibwa obwamukwasibwa kubanga bulimu n’okukuuma ebyo ebyalekebwa emabega bakadde be.

 

“Ensonga z’obuwangwa tezigenda mu kkooti era bwe tunaaziFfamire manyiizaayo, tujja kuba tuwedde. Ebifundikwa omugenzi by’abadde nabyo bya ffamire eyo gy’akulira era byonna yabifuna lwa kuginyweza.”

 

Walusimbi yayongeddeko nti, “Nnawulidde nti, abadde Ssaalongo. Egyo nagyo mikisa gya ffamire oba Ekika kye byonna ebikuumirwa awamu.”

 

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka abakulu b’ebika mu Buganda, Namwama Augustine Kizito Mutumba agamba nti, Ssennyonjo bw’aba yalese ekiraamo, okusaba kwe okw’okukyusa ekiggya kubeeramu eggumba, wabula bwe kibeera nga kyogerwa bwogerwa mu bigambo, awo ekya ffamire kye kibeera kiteekebwa mu nkola.

 

Namwama Mutumba yasabye enjuyi zombi ezikaayana okutuula wansi zituuke ku kukkaanya era bwe kibeera kisoboka banoonye abakulu mu Kika babalambike.

Tags:
Kika
Amawulire
Masaka
Kuyingira
Kuziika
Mugagga
Nsonga