OMUNTU omu afiiriddewo ate abalala bataano ne baddusiddwa mu ddwaaliro e Nakasongola okufuna obujjanjabi oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje mu kabuga Sasira e Nakasongola ku luguudo oluva e Kampala okudda e Gulu.
Eyafudde ye Anita Lunkuse (15) ate abaalumiziddwa mulimu Vanisha Nakazibwe (16), Amon Bukenya, Sadrack Sessanga (25), Sam Nannyombi ne Emmanuel Seguya eyabadde avuga takisi.

Ttakisi gye baayingiridde.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna ASP Sam Twineamazima ategeezezza nti akabenje kaaguddewo ku ssaawa 5:00 ez'emisana ku Ssande mmotoka Subaru forester No. UA 969 AD bwe yatomeragamye ne .ttakisi UA 525 DA.

Mmotoka eyakoze akabenje
Twineamazima ategeezezza nti takisi yabadde eva e Nakasongola okudda Kampala ng'esimbye emabbali w'ekkubo okuggyamu abasaabaze kwe kutomerwa mmotoka eyabadde eva e Kampala okudda e Gulu eyabadde eyisa n'egisangayo n'egitomera n'etta omu n'okulumya bataano.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Nakasongola ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.