Amawulire

ABAZIGU balumbye amaka g’omutuuze ne basaanyaawo buli kimu.

ABAZIGU balumbye amaka g’omutuuze ne basaanyaawo buli kimu.

Nsamba ali ku kitanda.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABAZIGU balumbye amaka g’omutuuze ne basaanyaawo buli kimu.
Bino bibadde ku kyalo Bweyo mu muluka gw’e Villa Maria mu disitulikiti y’e Kalungu, abazigu bwe baalumbye amaka ga Kato Matovu ne basaanyaawo buli kimu omuli n’okwokya ennyumba n’amasabo, okusaawa olusuku ne batuusa n’obulabe ku b’omu maka.
Omusasi waffe bwe yatuuse mu maka gano, yategeezeddwa nti abalumbaganyi baasoose kusala mbuzi olwo ne babasiba ku miguwa ne basaanyaawo buli kimu.
Peter Makumbi ne Yunus Kanwagi abaabaddewo nga byonna bigenda mu maaso, baagambye nti abazigu baabadde babagaliridde amajambiya n’embuukuuli z’emiggo nga batambulira mu mmotoka eziwerako.
Bwe baatuuse mu kifo kino ne batandika okukola effujjo. Baagambye nti wadde baategeezezza ku poliisi, teyabayambye. Abamu ku baakoseddwa mu bulumbaganyi kuliko; Ronald Kagolo ne Nsamba Ggonzaga nga mu kaseera kano bajjanjabirwa Villa Maria.
Matovu yategeezezza abazigu baayonoonye ebintu ne batwala ne ssente enkalu, ebyapa, engoye n’asaba bayambibwe. Yagasseeko nti embeera eno yeekuusa ku nkaayaana z’ettaka okuva mu ba ffamire abamu abaagala okutunda ettaka ly’Ekika abalala kye bawakanya.
Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye yagambye nti bakutte abantu bana (4) okuli; Joseph Bisaso, Kato Muwonge, Mulindwa Emmanuel ne Kafeero Christopher bayambe mu kunoonyereza.

Tags: