Amawulire

Abazadde bakubiriziddwa okusomesa abaana aby'emikono

DR. Abel Mukakanya Muwumba omukungu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo by’amatendekero agawaggulu ekya UBTEB yasabye abazadde okufaayo okusomesa abaana naddala mu by’emikono singa eggwanga lyakutuuka ku nkulaakulana ey’olubeerera.

Abaana nga bali mu mukusoma aby'emikono
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision

DR. Abel Mukakanya Muwumba omukungu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo by’amatendekero agawaggulu ekya UBTEB yasabye abazadde okufaayo okusomesa abaana naddala mu by’emikono singa eggwanga lyakutuuka ku nkulaakulana ey’olubeerera.

Okwogera bino, yasinzidde ku ttendekero lya Jimmy Ssekasi e Kabalagala mu kutongoza olunaku lwe banaayitanga abazadde okulondoola biki bye basomesa abaana wamu n’abayizi okwolesa bye bakola okugeza mu by’okufumba, okutunga, okusiba enviiri n’ebirala wamu n’okubamanyisa ebituukiddwako ku ttendekero lyabwe.

Mukakanya yategeezezza nti okusinziira ku nsi ezikulaakulanye ezisinga, essira basinze kuliteeka ku kusomesa bya mikono kuba omuntu abisomye asobola okwetandikirawo omulimu okusinga okugunoonya nga n’omuzadde takaluubirizibwa kunoonyeza gw’asomesezza mulimu.

Yakuutidde abayizi nabo okutwala eby’emikono ng’eky’omuwendo ekisobola okubabbulula mu nnyanga y’obwavu era n’abasaba okubissaako ennyo essira ate okubyagazisa n’abalala.

Hassan Kajoba akulira emirimu ku Jimmy Ssekasi yategeezezza nti newankubadde ettendekero lyamanyika nnyo mu by’okufumba, ate basazeewo okuteekawo emisomo emipya okuyamba ku bannayuganda okuganyulwa mpeereza ennungi.

Yagambye nti eno egenda kubeera nkola yaabwe buli mwaka okuyita abazadde okulondoola bye basomesa abaana n’okuwabulwa aweetaagisa okukyusa. Ono era yakubirizza bannayuganda nabo okufunayo ku kadde okusoma kkoosi z’eby’emikono kuba kati gwe mugendo oguyinza okunnyulula eggwanga mu ddubi ly’obwavu.

Eyaliko Minisita w’ebyobuwangwa n’ennono mu Buganda era Dayirekita wa Jimmy Ssekasi David Kyewalabye Male naye yakkaatirizza eky’eby’ebimikono okutwala eggwanga mu maaso n’asaba abalina obuyinza ate okwongera okubissaamu amaanyi okutuukana n’omutindo gw’ensi yonna

Tags: