ABATO ku ssomero lya Kids & Love Daycare & Kindergarten e Bwebajja ku luguudo lwe Ntebe mu Wakiso, boolesezza ebitone ku lunaku lw'ebyobuwangwa.
Lino likulirwa Mukyala wa Katikkiro wa Buganda, Margaret Mayiga ng'ono ategeezezza nga bwebaagala ennyo okukuliza abaana mu mbeera nga bamanyi obuwangwa bwabwe okuva obuto.
Margaret Mayiga ng'ayogera ku mpisa y'abaana
Mu kwogera kwe Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nga bwekiri ekirungi okukuza abaana nga basanyufu buli kadde nga kino kyakuyamba okukuza abaana abatatwalirizibwa kusomoozebwa wabula nga buli mbeera bagirabamu obuwanguzi.
Mayiga ayogedde nti abaana basaanye okuva wansi nga bayigirizibwa okuyiga okuweereza abalala era n'ategeeza nti Uganda eyagala okubeera n'abantu eky'okulabirako ekirungi eri abalala naddala abaana abato.
Abaana nga boolesa ebitone
Francisco Ssemwanga nga ye Pulezidenti wa Lotale Uganda ne Tanzania y'abadde omugenyi omukulu ng'ono atenderezza ab'essomero lino olw'okutegekanga ebintu nga bino okuli olunaku lw'ebyobuwangwa, olw'emizannyo n'ebirala ebiggyayo ebitone.
Abaana balaze ennyambala, embuuza, amazina ag'enjawulo mu mawanga ag'enjawulo mu Uganda n'ebweru waalyo.
Katikkiro ne Mukyalawe batonedde Ssemwanga ng'era ono yakulira amassomero Pride College e Mpigi,ekirabo ekimwebaza olw'okujja okukuliramu omukolo guno.