ERIA KISAMBIRA, akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Jinja alabudde abasomesa abalemedde ku ky’okukuba abaana nti amateeka gajjakubakolako.
Kisambira agamba nti kibooko n’ebibonerezo ebikakali abasomesa bye bakozesa nga balowooza nti bagunjula baana ate bivaako okubagoba mu masomero.
Kino kino agamba nti kyeyolekera mu masomero agamu agalimu abaana abatono. Yabajjukizza nti abayizi webatali, abasomesa tebabeera na mirimu.
Bino Kisambira yabyogeredde ku ssomero lya MM Wairaka College gye yabadde mu musomo ogwakulungudde ennaku essatu ng’abasomesa naddala abakola ku nsonga z’abayizi (senior women ne senior men) babangulwa ku ngeri gye basobola okumalawo okutulugunya kw’abaana mu masomero. Omusomo gwategekeddwa minisitule y’ebyenjigiriza ng’eri wamu n’ekitongole kya UNESCO ne Trailblazers Mentoring Foundation (TMF) wansi w’omulamwa; Connect with respect. Building positive respective relationships and reducing gender based violence in schools.
Joyce Atimango akulira Trailblazers Mentoring Foundation ng'ayogerako eri abasomesa
Ekivvuunulwa; “Okuzimba emikwano n’enkolagana ennungi kisobole okukendeeza okutulungunyizibwa kw’abaana mu masomero.”
“Buli bwe mutulungunya abayizi, badduka mu masomero gammwe,” Kisambira bwe yagambye.
Yawadde ekyokulabirako ky’essomero gye yasanga ng’ekibiina ekyokusatu (P.3) kirimu abaana bangi okusinga ebibiina ebirala. Kisambira yawaayo akadde n’agenda mu kibiina ekyo n’azuula ng’ennamba y’abaana eva ku ngeri omusomesa gy’abayisaamu. Yali abafaako nnyo ng’oyinza okulowooza y’abazaala. Kw’olwo yalina akawagu k’amenvu nga buli ayita ekibuuzo amuwagulirako.
Ye Resty Naigaga, Community Development Officer (CDO) w’eggombolola ya Buwenge naye yalabudde abasomesa beesonyiwe okukuba abaana nti kubanga kijja kubaleetera ebizibu. Yagambye nti abaana abamu balina endwadde enzibu. Oluyi lumu luyinza okumusuula eri n’alambaala.
Yabasabye okukozesa emitendera emituufu egy’okugunjula abaana. Gino kuliko; okusooka okwefuula atalaba bye bakola essira n’olissa ku bannaabwe abakola obulungi ng’obawaana n’okubeebaza okukola obulungi. Olwo bali abakola obubi basobola okwekuba mu kifuba ne bakyuka. Ekyo bwe kitakola, batuukirire obalagire ekyokukola era obalage nti bye bakola si bituufu. Era osobola okubabuuza kye bakola bwe baddamu n’obabuuza kiki kye balina okukola ekituufu. Ebyo nga bigaanye, bagobere ebweru naye faayo okulaba nga tebatoloka ku ssomero.
Nakyo bwe kigaana, yita omuzadde wabula Naigaga alabula nti topapa kutuusa nsonga ku bazadde kubanga abamu baakoowa okubasumbuwa. Ayinza okujja n’akubaakuba omwana oba okumuggya mu ssomero.
Ye Joyce Atimango, akulira TMF yasabye abasomesa okubeera abakkakkamu nga bagunjula abaana era beewale okukozesa ebigambo ebisasamaza ate okugunjula kubeere kwa kaseera katono ddala