ABALIMI mu bitundu ebirimu ekyeya mu ggwanga basekera mu kikonde oluvannyuma lwa kkampuni ya sun culture uganda okubaleetera ebyuma ebifukirira ku kibanja mpola.
Ebyuma bino ebikozesa amaanyi g'enjuba bisobola okuyiwa amazzi okusukka mmita 100 nga bifukirira mu mitendera egiwerako.
Ku byuma bino bongeddeko n'enkola ya yinsuwa nga eno yaakuweebwa omulimi aguze ekyuma ku kibanja mpola.
Keneth Eyal akulira sun culture mu uganda agumizza abalimi okwerabira ekyeya nga ebyuma bino weebiri.
Aba sun culture nga banjula Tekinologiya
Munkola eya yinsuwa abalimi abafunye obulwadde baakujanjabwa okumala ebiro amakumi asatu ate singa baba bavudde mu bulamu bwensi eno era baakuyambibwako mu byokuziika. Sun culture ekolagane ne kkampuni ya yinsuwa eya turaco nga enkola eno bagiyise “pay as you grow”.
Enkola eno yatongozeddwa ku kitebe kya sun culture ekisangibwa e ntinda mu kampala nga yaakuyamba abalimi bonna abagula ebyum ebifukirira ebirime.