PULEZIDENTI wa China akutte genero ow’oku lusegere kati gw’alumiriza okusomola ebyama by’eggwanga lye n’abibundugguliranga America bwe batalima kambugu.
Ebyama okusinziira ku mawulire ga The Telegraph, bisinga kukwata ku bbomu za nukiriya wa China enneekusifu. Okusinziira ku bali mu Gavumenti ya China, kyandibadde ekirala nga si by’amagye naddala bbomu ezo, ekyaggye Pulezidenti Xi Jinping mu mbeera n’amusiba.

President Jinping
Genero Zhang Youxia eyasibiddwa, y’omu ku babadde basinga okubeera ku lusegere lwa Jinping era nga kye kyasinze okumunyiiza kuba era amanyi bingi ku magye.
Abaffamire ya Genero Zhang abaayogeddeko ne bannamawulire mu kyama bagamba nti, Jinping yanyiize nnyo n’awaayiriza nti, omuntu waabwe mu kulya enguzi abadde muka nga kati gy’emisango emirala egimunoonyerezaako.
Zhang amanyi ebyama bingi ku ntambuza ya Gavumenti ya Jinping n’amagye g’eggwanga lye kubanga ali ku kakiiko Central Military Commission (CMC), akafuga amagye ga China. Akakiiko, Zhang akaliko ne Genero omulala Liu Zhenli nga naye baamugasse ku misango gye gimu.
Emisango emirala egy’enguzi gye baabataddeko bombi kuliko n’okugulirira okulinnya amadaala nti baakozesa ssente mu magye naye tebalina gye baalwana w’amaanyi. Genero Zhang alinnye nnyo amayinja mu bukulembeze bwa Jinping obumaze emyakia 13.

Trump Bw'afaanana.
JINPING AYONGEDDE KU BUNGI BWA BBOMU ZA NUKIRIYA
Kigambibwa nti China yalinabbomu 300 okusinziira ku mukutu gwa Global fire power nga kati eteeberezebwa okuweza 500. America erina lipoota eraga nti China eruubirira kuweza bbomu 1,000.
America erina ezisoba mu 4,000 ate Russia eri mu 5,000. Ekyasinze okuluma Jinping ekirala nti abadde asuubira nti ne bw’aba afunye ekizibu, Gen. Zhang ow’emyaka 75 ye yandibadde amuddira mu bigere.
Wabula waliwo abagamba nti mu magye ga China, waliyo okwerwanyisa okw’amaanyi okwavuddeko okuwaayiriza Gen. Zhang nga bamusibako eby’okulya mu nsi ye olukwe.

Gen. Zhang
Omu ku balondoola ebyobufuzi bya China, Dr. Alessandro Arduino, ow’ekitongole kya Royal United Services Institute, agamba nti wabaddewo okwerumaaluma mu magye era ye eby’okusiba genero oyo tabyewuunya.
Gen. Zhang n’amagye ga America olumu babadde basisinkananga ku misomo egy’enjawulo ku mirundi emitono amawanga gombi gye gabeera gakkiririziganyizza okukolagana. Ogukyasembyeyo gwaliwo mu 2024, ku liyanja lya Atlantic mu musomo gwe baatuuma Western Pacific Naval Symposium.