Bya Edith Namayanja
EKIBIINA ekigatta abayimbi mu ggwanga ekya Uganda Musician Association wamu n’ekya National Culture Forum byagala buli ssimu etundibwa mu ggwanga eggyibweko ensimbi ezinaasasulwa abayimbi olw’obuyiiya bwabwe.
Abayimbi ensimbi zino ze batuumye Private Copy Levy bategeezezza nti ssente zino baagala ziggyibwe ku buli eby’obuyiiya bwabwe okulaba ng’abayimbi basobola okufuna mu ntuuyo zaabwe.
Ssentebe W'akakiiko Ka Ict Eng. Moses Magogo Wamu N'omumyuka We Tonny Ayo Nga Bakubiriza Akakiiko
Bano okubadde Cinderella Sanyu Okuyo, Phinah Mugerwa Masanyalaze, Daniel Kazibwe n’abalala balabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola eby’amawulire ne tekinologiya akakubirizibwa omubaka wa Budiope East, Eng. Moses Magogo okunnyonnynola ku kwemulugunya kwabwe kwe baaleeta mu palamenti gye buvuddeko.
Omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ekya National Culture Forum, Charles Batambuze agamba nti wadde abantu basobola okubeera n’ennyimba z’abayimbi ku masimu gaabwe ne bazikozesa nga bwe baagala naye bano tebalina wadde ekikumi kyebawa eri abayimbi nga kati baagala gavumenti buli ssimu entudibwa oba ekintu kyonna ekisobola okweyambisa okusaasanya ennyimba wabeewo ensimbi eziggyibwako nga zigenda mu nsawo ya bayimbi.
Omuyimbi Daniel Kazibwe (Ragga Dee) ategeezezza ababaka nti gavumenti ezze eraga nti kkampuni z’amasimu ze zisinga okusasula omusolo naye kino kiva ku’ data’ abantu gwe bakozesa okulaba ebintu byabwe ebiyiiye nga bwe batyo bandyagedde nabo okuganyulwa mu ntuuyo zaabwe.
Omumyuka wa ssentebe wa kakiiko ka palamenti aka ICT, Tony Ayoo bano ababuuzizza singa kye basaba kiteekebewa mu nkola, ensimbi zino bagenda kuzigabana batya ?
Ye Geoffrey Ekongot ategeezezza ababaka nti bagenda kussaawo enkola erondoola ennyimba ezizannyibwa ng’ abayimbi baakusasulwa okusinziira ku bungi bw’ennyimba ezizannyiddwa.