Abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga aba 2019, basitula nga June 3, guno okugenda e Budaaki okulambula n’okuyigira ku balunzi n’abalimi baayo.

Josephat Byaruhanga Ng'annyonnyola.
Ku Lwokusatu lwa wiiki ewedde nga May 10, 2023 baatwalibwa ku Grand Global Hotel mu Kampala okubangulwa mu neeyisa n’engeri gye basobola okwetunda eri be bagenda okusisinkana okulaba nga basobola okutondawo enkolagana ya businensi wakati waabwe n’Abaaki be bagenda okusisinkana.
Abawanguzi 13 be bagenda okutambula okuli: Rebecca Ssenkubuge omulimi w’enkene enzungu, Christine Kiwanuka ow’e Iganga, Anthony Mateega Naakirya ow’e Mpigi, Dauson Musasizi ow’e Namutumba, Joseph Male ow’e Wakiso, Charles Byarugaba (68) eyakiikiriddwa Bright Mbabazi okuva e Kabale, Nasib Mwaka ow’e Kakumiro, Fred Lugard Ojok ow’e Nwoya, Regina Nabwire ow’e Busia, Grace Kwach, Tom Patrick Oyo e Dokolo, Gideon Akol Emukulio okuva e Kumi ne Phenton Tumwesigye okuva e Kabale.

Rebecca Ssenkubuge Azza Ng'ayogera By'ayagala Okufuna E Budaaki
Ronald Mukasa akola n’ekitongole kya Enterprise Uganda akulembeddemu okusomesa abalimi bano agamba nti omusomo guno gugendereddwamu okubawa obukodyo n’engeri gye basobola okutunda bizinensi zaabwe eri abalimi, abalunzi, kkampuni, amatendekero n’ebitongole bye bagenda okusisinkana mu lugendo luno.
“Tusuubira ng’abantu bano buli omu alina ebiruubirirwa bye wabula nga kyetaagisa okweteekateeka obulungi okusobola okuguza oyo gw’ogenda okusisinkana era gw’oyagala okuggyako ky’oyagala.
Balina okumanya eneeyisa y’abantu bagenda okusisinkana basobole okumanya engeri gye balina okweyisa nabo,” bw’agamba. baagala buli kiseera ekigere,” bw’agamba.
Josephat Byaruhanga akola n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda era agenda okubakulembera mu lugendo luno, abawabudde okubaako eby’okuyiga bye badda nabyo ebisobola okukyusa ffaamu zaabwe kyokka n’obulimi n’obulunzi mu Uganda.