Abavubuka mube bayiiya nnyo, mweyambise tekinologiya okwetandikirawo emirimu - Jesca Alupo

AMUMYUKA wa Pulezidenti Jesca Alupo akubirizza abavubuka okubeera abayiiya nga beeyambisa tekinologiya, kibayambe okwetandikirawo emirimu okusinga okutambula mu bitongole nga banoonya emirimu egitaliiyo.

Abavubuka mube bayiiya nnyo, mweyambise tekinologiya okwetandikirawo emirimu - Jesca Alupo
NewVision Reporter
@NewVision
#Alupo

Alupo agamba nti guno omugigi gw'abavubuka gulina obuvunanyizibwa okulaba nga gweyambisa tekinologiya okumalawo ebizibu ebiruma ensi omuli ebbula ly'emirimu, enkyukakyuka mu mbeera y'obudde, okusanyaawo obutonde bw'ensi kwossa okunonyereza ku bintu ebirala ebiyinza okuvaamu amasannyalaze.

Bino Alupo abyogeredde ku matikkira ag'omulundi ogw'okubiri aga King Ceasor University, agabadde e Bunga mu Kampala olwaleero nga February 22, 2022.

Ye Cansala wa yunivasite eno, Augustus Mulenga asabye abayizi abatikiddwa okukuuma obumu n'okuba abayiiya nga bali mu nsi y'emirimu kibayambe okutuuka ku buwanguzi.

Awadde eky'okulabirako nti Abayizi 10 abasomye obusawo basobola okukwatagana ne bakola eddwaaliro.

Abakuguse mu by'obulimi basobola okukola ffaamu ggaggadde okuli amagezi ag'ekikugu mu by'obulimi n'obulunzi, ne kibayamba okwetonderawo emirimu n'okutonderawo abalala emirimu.

Alupo asuubizza nga gavumenti bw'erina enteekateeka okuyambako amatendekero aga waggulu ng'eyita mu Minisitule y'Ebyenjigiriza n'Ey'ebyobulamu.

Amyuka Pulezidenti, Jesicca Alupo ku mukolo gw'amatikkira

Amyuka Pulezidenti, Jesicca Alupo ku mukolo gw'amatikkira

Omukolo gwetabiddwaako Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebya waggulu, Dr. John Chrysostom Muyingo, Minisita w'ebyamawulire, Chris Baryomunsi, Minisita w'abaana n'Abavubuka, Sarah Mateke n'abalala.

Login to begin your journey to our premium content